Omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda Owek. Prof. Twaha Kawaase Kigongo asisinkanyemu Abaami ba Kabaka mu Bungereza ne Ireland.
Bakubaganyizza ebirowoozo ku nsonga ez’enjawulo ez’okwekulaakulanya n’okukulaakulanya Buganda.
Abasabye bulijjo okujjukiranga ewaka gyebava era n’abasaba okwongera okukumaakuma abantu ba Kabaka abali mu mawanga amalala n’okubakunga okuwagira enteekateeka z’Obwakabaka.#