• Latest
  • Trending
  • All

Omwana ne nnyina bakaligiddwa – lwakutunda bisigalira by’abafu 560

January 4, 2023
Vipers FC ye Nnantameggwa wa Uganda premier League 2022/2023

Vipers FC ye Nnantameggwa wa Uganda premier League 2022/2023

May 27, 2023
Stanley Kisambira ddereeva mu ssiga eddamuzi – ateereddwako obukwakkulizo obuggya

Stanley Kisambira ddereeva mu ssiga eddamuzi – ateereddwako obukwakkulizo obuggya

May 27, 2023
Miss Tourism Buganda 2023/ 2024 – MunnaBuddu Nabakungula Vanessa y’awangudde engule

Miss Tourism Buganda 2023/ 2024 – MunnaBuddu Nabakungula Vanessa y’awangudde engule

May 27, 2023
Ababaka aba NRM batandise olusirika lwabwe e Kyankwanzi – Obwavu buli ku mwanjo

Ababaka aba NRM batandise olusirika lwabwe e Kyankwanzi – Obwavu buli ku mwanjo

May 27, 2023
Omumbowa wa Kabaka afudde!

Omumbowa wa Kabaka afudde!

May 26, 2023
Ebika ebigenda okuzannya empaka za 2023 – biweereddwa emipiira

Ebika ebigenda okuzannya empaka za 2023 – biweereddwa emipiira

May 26, 2023
Police efulumizza alipoota ku kabenje akagudde e Kamwokya – abantu 2 bafudde

Police efulumizza alipoota ku kabenje akagudde e Kamwokya – abantu 2 bafudde

May 26, 2023
Alshabaab ekoze obulumbaganyi ku magye g’omukago gwa Africa agakuuma emirembe mu Somalia – omuwendo gw’abafudde tegunamanyika

Alshabaab ekoze obulumbaganyi ku magye g’omukago gwa Africa agakuuma emirembe mu Somalia – omuwendo gw’abafudde tegunamanyika

May 26, 2023
Abantu 3 bafiiridde mu nnyanja Kacheera

Abantu 3 bafiiridde mu nnyanja Kacheera

May 26, 2023
Abantu 7 bateeberezebwa okuba nga bakyawagamidde wansi mu ttaka eryaziise ennyumba – ggunduuza ziremereddwa okutuukayo

Abantu 7 bateeberezebwa okuba nga bakyawagamidde wansi mu ttaka eryaziise ennyumba – ggunduuza ziremereddwa okutuukayo

May 26, 2023
Omusolo gw’ebizimbe gutabudde abakulira Makindye Ssaabagabo – baddukidde mu kooti

Omusolo gw’ebizimbe gutabudde abakulira Makindye Ssaabagabo – baddukidde mu kooti

May 26, 2023
Buganda Bumu North America Convention : Katikkiro wakusisinkana abaganda abali mu Americane Canada

Buganda Bumu North America Convention : Katikkiro wakusisinkana abaganda abali mu Americane Canada

May 25, 2023
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • Cbs Funs Club
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation
  • Login
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • Politics
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Funs Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • Events
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Uncategorized

Omwana ne nnyina bakaligiddwa – lwakutunda bisigalira by’abafu 560

by Namubiru Juliet
January 4, 2023
in Uncategorized, World News
0 0
0
0
SHARES
16
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Abaali baddukanya kkampuni ekuuma n’okwokya emirambo baggaliddwa lwa kutunda bisigalira by’abafu!

Kkooti mu Colorado ekya America ekalize omwana ne nnyina mu nkomyo bebakeyo emyaka 20 ne 15 balangibwa kutundanga bitundu by’emibiri, byebaasokoolanga mu mirambo egyaterekebwanga mu kampuni gyebaali baddukanya (Funeral home).

Omukyala Megan Hess atemera mu myaka 46 ne nnyina Shirly Koch etemera mu myaka 69 baggulwako emisango era bennyini nebagikkiriza.

Obujulizi bulaga nti wakati wa 2010 ne 2018 ababiri bano baasokonkola emirambo 560 nebagiggyamu ebimu ku bitundu byagyo nebabikuba ebbeeyi, nga tebafunye lukusa kuva mu bannannyini gyo!

Hess akaligiddwa emyaka 20 ate nnyina 15 gyebanaamala mu kabulamuliro.

Obujulizi obuleeteddwa mu kkooti bulumye ababiri bano nti beekobaananga nebabaaga emirambo nebaggyamu ebitundu eby’ettunzi, oluusi n’emirambo emiramba nga bagitunda olwo bannanyini gyo nebabawaamu egitali gyabwe, ate nga n’egimu gyayokebwanga ekitaalinga kyangu kutegeera nti ddala ebitundu byonna byalinga byokeddwa.

Kitegeerekese nti Hess owa Sunset Mesa Funeral Home mu kibuga Montrose abadde asaba ensimbi ddoola 1,000 ku bafiiriddwa okukuuma n’okwokya buli mulambo, kyokka mbu olumu abafiiriddwa asalawo okubakuumira omulambo gwabwe ku bwereere olwo ye aggyemu ebitundu byayagala ebyefuniremu ensimbi.

Kkooti yakitegedde nti abakyala bano baasinganga kubuguyaza abo abajjanga nga bali mu nnaku etagambika, olwo nebeefuula abalumiddwa awamu nabo, songa baalina ekkerejje lyebasala okubatwalako omulambo gwabwe.

Omu ku baakutuusibwako ekikolobero kino ategeezezza kkooti, nti abakyala bano abaalabika nga abazira kisa babamalamu nnyo obwesige, kubanga baali babenyumirizaamu kumbe babbi ba bbaluwa.

“Megan oyo bweyabba omutima gwa maama wange, n’ogwange n’agukutula, era leero tuzze tumulabeko nga naye atyemulirwa ekibonerezo kye’’

Omulamuzi agubadde mu mitambo Christine Aguello agambye nti ebbanga ly’amaze mu bulamuzi, guno gwe musango ogw’ebyewuunyo gwasookeddeko okuwulira era bwatyo n’alagira bano baggalirwe awatali kulonzalonza.#

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • Cbs Funs Club
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • Cbs Funs Club
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist