Omuzaana Venetia Sebudandi aziikiddwa ku kyalo Rusororo mu Rwanda.
Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era omuwanika Owek Robert Waggwa Nsibirwa yaakiikiridde Obwakabaka.
Omuzaana Sebudandi y’azaala Omulangira Kiweewa Cryspin Jjunju.
Okusabira omwoyo gw’Omuzaana Amb. Venetia Sebudandi kubadde Remera Giporoso mu kibuga Kigali Rwanda, kukulembeddwamu Bishop Nathan Amooti Rusengo.
Obwakabaka bwa Buganda bukiikiriddwa, Nnaalinnya Lubuga Agnes Nnabaloga, omulangira David Kintu Wassajja, omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda Owek.Robert Waggwa Nsibirwa n’abambejja n’abalangira abalala bangi.
Government ya Rwanda ekiikiriddwa mukyala wa president wa Rwanda nga ye Jeannete Kagame.#