Omuwendo gwabasibe abakakwaatibwa ekirwadde ki COVID 19 gwongedde okulinnya nga abasibe 34 beebalina kati ekirwadde kino, okuva ku basibe 15 abaaliwo ssabbiiti ewedde.
Omuwendo gwabaakakwatibwa ekirwadde kino guli mu basibe 873, abaakawona bali 780, songa 59 baali basibe nebaatoloka mu kkomera e Moroto nekirwadde kino.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala omwogezi wa w’ekitongole kyamakomera Frank Baine agambye nti bakyaakola ekisoboka ne ministry yebyobulamu okutaakiriza abasibe abakyatawaanyizibwa ekirwadde.
Mungeri yeemu Baine ategeezezza nti ekitongole kisobodde okukwaata abasibe 43 nekibaggalira ku basibe 219 abaali baatoloka mu kkomera e Moroto, wabula nga bukyanga bano batoloka nemmundu 14 , emu yokka yeyaakalabikako.