Omuwendo guno gulinye okuva ku baffu 38 police beyaali yalangirira kulwokutaana lwa sabiiti ewedde.
Omuwendo gwabantu abaafiira mu bwegugungo sabiiti ewedde ebitongole byebyokwerinda bwebyaali bittunka nabeekalakasi abaali babanja okuyimbulwa kwomukulembeze wekibiina kya National unity platform Robert Kyagulanyi Ssentamu, gulinye nga kati baweze 45 okusinziira ku kulangirirwa okukoleddwa police mu ttuntu lyaleero
Omuwendo guno gulinye okuva ku baffu 38 police beyaali yalangirira kulwokutaana lwa sabiiti ewedde.
Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga asinzidde ku media center mu Kampala naagamba nti ku bano 45, abaffu 39 bassajja Songa 6 bakazi nga bali wakati wemyaka 19 ne 40.
Fred Enanga agambye nti werutukudde olwaleero emirambo 42 gyegibadde gyakajjibwa mu ggwanika e Mulago songa emirambo 3 teginanonebwa,olwabenganda zaabwe abatanalabikako.
Mu mbeera eno ,Fred Enanga agambye nti ebebyokwerinda okuva sabiiti ewedde bayigga abantu abeenyigira mu kwekalakaasa kuno era werutukudde olwaleero abantu 836 bebakakwatibwa.
Ku bano ,Fred Enanga anyonyodde nti 362 baasimbibwa mu Mbuga zamateeka nebaggulibwaako emisango ,330 nebasindiikibwa mu makomera agenjawulo songa 633 tebannaatwaalibwa mu Mbuga zamateeka okuggulibwaako emisango.
Abakwaate Fred Enanga agambye nti abebyokwerinda baabafuna basinziira ku camera za police eziri ku nguudo,camera zabantu kinoomu eziri ku bizimbe saako amagezi agabuulijjo amalala ,naagamba nti ebebyokwerinda bagenda kugenda maaso okuyigga abo bonna abeenyigira mu kwekalakaasa kuno .
Police era esabye bannansi abasobola okugiyambako bagitwaalire obujjulizi era etaddewo nesssimu ya whatapp obujjulizi buno kwebusobola okusindikibwa.
Fred Enanga agambye nti okuva sabiiti ewedde , police yakafuna emisango 116 egikwaata ku kwekalakaasa okwaaliwo, era nategeeza nti police yawadde ba commanders mu bitundu byeggwanga byonna, okwongera okukola ebikweekweeto okuyigga nokukwaata abantu bonna abeenyigira mu kwekalakaasa kuno mu bitundu 300 ebyaalimu okwekalakaasa okwetoloola eggwanga lyonna