Obwakabaka bwa Buganda bwanjuliddwa Lwomwa omuggya Eria Lwasii Buzaabo, nga yazze mu bigere bya Lwomwa Omubuze Eng Daniel Bbosa eyakubidswa amasasi agaamuggya mu bulamu bw’ensi.
Lwomwa Eria Lwasi Buzaabo ayanjuddwa Katikkiro wa Lwomwa nga ye Paul Kiyinji Luwombo eri Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga.
Eria Lwasi Buzaabo y’abadde Katikkiro wa Lwomwa omubuze Eng.Daniel Bbosa.
Mutabani w’omugenzi Bapere Ezeekeeri Luggya Lwasi ne Miriam Nabawanuka Ow’ekyeejo abe Ggaba.
Lwomwa omuggya ava mu ssiga lya Luwanga.
Eria Lwasi Buzaabo yakuguka mu by’empuliziganya eby’ebyuma bikalimagezi, n’okuwabula ebitongole.
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, asabye Lwomwa omuggya agatte bazzukulube n’Okusigala ng’atambuza emirimu gy’ekika nga bwegibadde gitambula.
Minister w’ebyobuwangwa ,Ennono, eby’okwerinda n’Amasiro Owek Anthony Wamala ,agambye nti emitendera gyonna egyokulonda Lwomwa gigobereddwa.
Lwomwa Eria Lwaasi Buzaabo mu bubakabwe, yeeyabye okutwaala ekika ky’Endiga mu maaso, okukuuma abazzukulu nga bali bumu n’Okubeera omuwulize eri Ssaabasajja.
Oluvannyuma lw’okufuna Lwomwa omuggya, wakwanjulirwa eri Ssaabasajja Kabaka, era ne Lwomwa omubuze aziikibwe.
“Nabbosa Nabbosa mpaawo alimuliisa endiga”#