Police etandise okunoonyereza ku musirikale waayo Kitiyo Alex No.1037 agambibwa okuba nti yekubye amasasi agamuttiddewo.
Omusirikale Kitiyo myaka 47 abadde akolera ku police ye Makokoto mu gombolola ye Makokoto mu district ye Kassanda.
Kityo asoose kusasira masasi ku nnyumba ya mukama we OC w’e Makokoto Kakooza John, naye oluvannyuma neyetta.
Omwogezi wa police mu kitundu ekyo Racheal Kawala agambye nti bino byonna bibaddewo ku ssaawa nga kkumi neemu eyookumakya nga busaasaana.
Kityo agenze ku nnyumba ya OC Kakooza Alex n’atandika okugisasira amasasi nga talina kigambo kyonna kyanyega, kigambibwa nti ayinza okuba alowoozezza nti amusse, naye kwekuddayo mu nju ye neyekuba amasasi agamusse.
Kawala awadde.amagezi abantu abalina okusomoozebwa okutegezaako abantu abalala, mu kifo ky’okwetta n’okutta abalala.
Ettemu ly’emmundu likyaase nnyo omwezi guno , olw’abakuuma ddembe abazze begya mu budde n’Okutemula bannansi.
Eyali minister w’ensonga z’abakozi Okello Charles Engola yattiddwa omukuumiwe munnamagye Private Wilson Sabiiti, munnansi wa Buyindi Uttam Bhandari yakubiddwa amasasi omuwerikale wa police Ivan Wabwiire.
Mu mbeera yeemu omuserikale wa police Charles Opio e Mbarara yakubye omujaasi wa UPDF Yeremiah Paper amasasi agaamugye mu budde, so nga waliwo n’onusirikale wa kampuni y’obwannanyini eya SGA agambibwa okuba nti yekubye amasasi ku Buganda road mu Kampala n’abalala.
Bisakiddwa: Ssebuufu Baanabakintu