Omusirikale wa police agambibwa okuwamba pikipiki ku wa bodaboda neyefuula n’aagibba asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi n’aggulwako omusango gw’obubbi.
PC Micheal Ahabwe myaka 37 asiimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka Siena Owomugisha mu kooti ya Buganda road omusango agwegaanye.
Asiindikiddwa ku alimanda okutuuka nga 11 March 2024, lwanadda mu kooti.
Oludda oluwaabi lugamba nti Michael Ahabwe abadde akolera ku police ye Amolatar ng’ava ku kyalo Kakiika Ward mu district ye Mbarara omusango yaguzza nga 4 March,2022, bweyali akyakolera ku ka police post ka Master Stage ku Equatorial Mall Bombo Road mu Kampala Central.
Kigambibwa nti yasooka kuwamba bodaboda No. UFF 262A Bajaj boxer, ebalirirwamu obukadde bqa shs 5 , era nga yali ya Walusimbi Samuel Wasswa.
Ahabwe yefuula awambye pikipiki eno olwa nnyiniyo okumenya amateeka g’okunnguudo, kyokka teyagituusa ku police, n’abulawo nayo.
Omwogezi wa police Fred Enanga agambye nti Ahabwe alina n’omusango omulala ogw’okubba ebyuma by’ekitogole ky’amasannyalaze ekya UETCL ebibalirirwamu akakadde ka shilling kalamba.
Enanga agambye nti Ahabwe bweyamala okubba bodaboda nadduka mu police neyegatta mu kitongole ky’obwannanyini ekikuuma ekya SGA.
Bisakiddwa: Betty Zziwa