Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alaze abakulembeze ku ssemazinga wa Africa obukulu bw’abakulembeze b’ennono mu kulwanyisa siriimu, naabasaba abalala balabire ku ngeri Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II gy’akulembeddemu kawefube ono.
Katikkiro abadde ayogerako eri ebikumi n’ebikumi by’abakungu abeetabye mu lukungaana lw’amawanga amagatte olugendereddwamu okutema empenda z’okumalawo Mukenenya munsi yonna oluyindira mu kibuga Harare ekya Zimbabwe.
Katikkiro mu kwogerakwe eri abakungu mu lukungaana luno ayogedde ku bikoleddwa Ssaabasajja Kabaka okulwanyisa siriimu,omuli emisinde gy’amazalibwage egizze givaamu ensimbi okulwanyisa siriimu, emipiira gy’Amasaza ga Buganda, Ebyooto mu matendekero n’amasomero,emipiira gy’ebika n’ensiisira z’ebyobulamu nga byonna bitambulizibwa ku mulamwa gwakulwanyisa mukenenya.
Katikkito asabye abasajja abalowooleza mu kuggya abawala ku mulamwa okusooka okulowooza ku baana baabwe abawala, ba nnyaabwe ne bannyinaabwe embeera gyebandyagadde babeeremu, olwo bakole byebaagala.
Katikkiro agambye nti abasajja basuubirwa okufaayo ennyo ku bulamu bwabwe olwo kitaase abaana abawala.
“Omusajja beera musaale mu kwekebeza, okugula ebitangira mukenenya”
Katikkiro agambye nti mu Mawanga mangi mu Africa abasajja bebatandikirwako buli kimu, Ssaabasajja kweyasinziira okusiima babeere emunyenye.
Katikkiro alambudde abakola obuuma obukozesa tekinologiya okwekebeza omusaayi mu bwangu noomanya bwoyimiridde.
Obuuma bukebera endwadde nga; mukenenya, omusujja gw’ensiri, ne Nalubiri.
Asabye abantu okutwala ensonga y’okwekebeza ng’a nkulu ddala.#
.