Omuntu omu aggudde mu nnyanja naafiiramu ate abalala babiri nebasimatuka e Bweema mu bizinga e Buvuma, bwebekanze eryato lya banaabwe nga balowooza nti basirikale abalwanyisa envumba embi ku nnyanja.
Afudde ye Mutebi Ronald ng’atemera mu gy’obukulu 45, era ng’abadde mutuuze ku kyalo Mutyomu mu gombolola y’e Bweema.
Sipiika w’e gombolola y’e Bweema, Bagalya Hussein agambye nti bino biguddewo ssaawa nga ssatu ez’ekiro, ababadde ku lyato bwebekaanze eryato eddala nebagezaako okudduka, kyokka gyebaddukidde gyebasanze omuti ogubadde gwagwa mu mazzi nebalowooza nti babadde basemberedde olukalu.
Omu abuseeko ku lyato n’agwa mu mazzi ng’alowooza gali kumpi n’olukalu wabula gabadde mawanvu.
Wabula Bagalya Hussein awadde abavubi amagezi okufuba okutereeza envumba yabwe, kikendeeze ku bunkeenke bwe babeeramu entakera.