Omu ku bambowa ba Kabaka Hajji Hussein Ssengendo avudde mu bulamu bw’ensi, oluvannyuma lw’akaseera akawerako nga mukosefukosefu.
Haji Ssengendo yafiiridde mu makaage agasangibwa e Nakiwaate ekiri mu gombolola ye Nakifuma mu ssaza Kyaggwe.
Ssennoga Sulaiman Wamala omu ku baana b’Omugenzi ategeezezza nti kitaabwe yatandika okunafuwa mu mwaka 2020, ekyamuwaliriza okuwummula emirimu gy’Embuga.
Ssennoga yeyanzizza kitaawe olwokuweereza Ssaabasajja Kabaka nga teyeebalira, naasaba Allah amuwummuze mirembe.
Ssengendo agenda kuziikibwa ku lwomukaaga e Nakifuma mu ssaza Kyaggwe.#