Nnabbambula w’omuliro atanategerekeka kwavudde akutte ekisulo ky’abayizi abawala ku ssomero lya Bilal Islamic Institute e Kakiri mu district ye Wakiso, ebintu bingi nebifuuka muyonga.
Omuliro guno kigambibwa nti gwatandiise ku saawa nga biri ez’ekiro ekikeseza olwaleero ng’abayizi bali mu bibiina basoma.
Police y’abazinnya mwoto wetuukidde ng’ekisulo kyonna kiweddewo, nga kigambibwa nti gandiba ng’omuliro guvudde ku masannyalaze.
Omuliro ku masomero ensangi zino gweyongedde, ng’essomero lya Wilton Nursery and primary school mu kibuga Mityana nalyo lyakutte omuliro era ebintu by’abayizi byonna nebigwaawo.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif










