Omuliro gukutte ennyumba z’embaawo ezisukka mu 30 ku Kisenyi 2 Zone e Kamwokya mu Kibuga Kampala, mu kiro ekikeseza olwaleero nga 25 October,2024.
Omwana omu abadde asoma mu S.2 yeyakazuulwa ng’afiiriddemu, ate abalala 10 baddusiddwa mu ddwaliro nga bali mu mbeera mbi.
Omuliro guno kigambibwa nti gutandiise ku saawa nga 8 ez’ekiro ng’ abantu bebase.
Kiteeberezebwa nti gwandiba nga guvudde ku masanyalaze.
Abamu ku bantu abawangaalira mu kitundu kino,bagamba nti bawulidde kibwatuka n’amaanyi, ekiddiridde muliro kubuubuuka.
Police ezikiriza omuliro etuuse mu kiro naye esanze ebintu ebisinga bifuuse muyonga.
Omuliro ogw’engeri eno gwakwata ekitundu kye kimu mu 2021.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif










