Omulimu gw’okuzimba eddwaliro lya Buganda mu ssaza Singo erya Muteesa II Health Center IV gugenda bukwakku, oluvannyuma lw’ebbanga lya myezi 6 bukyanga gutongozebwa.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yagitongoza nga 02 May,2023, n’alagira nti eddwaliro lino libeere nga liwedde mu bbanga lya mwaka gumu, litandikirewo okujanjaba abantu ba Kabaka abeetooloddewo mu ssaza Ssingo, Buweekula, Gomba, Busujju n’awalala.
Obwakabaka bwa Buganda bwatongoza entegeka ey’okuzimba amalwaliro mu masaza ag’enjawulo, okuli Ssingo, Buddu ne Kyaggwe.#
Bisakiddwa: James Kaana Ssebuguzi