Ekitongole ky’enguudo ku Uganda National Roadd Authority( UNRA) kitandise okuddaabiriza oluguudo oluva e Kampala okudda e Masaka, olwabomose wakati wa Kyengera ne Buddo.
Oluguudo lwasoose kumenyekako ekitundu, wabula oluvannyuma lwonna lumennyeddwa okusobola okusaayo omukutu omuyita amazzi.
Emmetoka zonna zaayimiriziddwa okuyitayo, so nga n’abantu abambuza ebigere babateereddewo olutindo lw’ebibaawo.
Omwogezi wa UNRA Allan Ssempebwa agambye nti basuubira omulimu gw’okuzaawo oluguudo luno okuggwa mu bbanga lya nnaku 3.
Mu ngeri yeemu entambula ebadde nzibu ku nguudo endala emmotoka ezisiinga gyezisalinkirizza, olw’enkuba eyatonnye neziseerera, so nga n’endala omuli oluyita e Buddo okutuuka e Bunamwaya akalippagano k’ebidduka kabadde kamaanyi.#