Omulabirizi we Namirembe Kitaffe mu katonda Wilberforce Kityo Luwalira alabudde ku kitulugunya bantu ekisitudde ensangi zino, kyagambye nti kikolebwa abo abatamanyi maanyi ga Katonda nebefuula ba katonda bokunsi eri banaabwe.
Bwabadde akulembeddemu okusabira omwooyo gw’omugenzi Roselind Kyewalabye mukyaala wa minister webyobuwangwa nennono Owek David Kyewalabye Male ku kanisa yoomutuukirivu Mathius mu Kikajjo, omulabirizi Luwalira agambye nti munsi eno buli kiramu kiriwo ku mukka, bwatyo naalabula abakozesa omukka mukama gweyabawa okusanyaawo ogwa banaabwe nti bano bonoona busenze bwaabwe mu ggulu.
Omulabirizi Luwalira mungeri yeemu asabye abakkiriza okwetoloola ensi yonna okukeberanga emitima gyaabwe neebikolwa, kubanga bingi ku bikolwa ebikolebwa tebirina kifaananyi kya Bwakatonda.
Okusabira omwooyo gwomugenzi Roselind Kyewalabye kukyagenda mu maaso, era kwetabiddwaako ebikonge okuva mu Bwakabaka bwa Buganda ne mu gavumenti eyaawakati, era olunaku lwebkya Roselind lwagenda okuziikibwa ku kyaalo Kiweebya ekisangibwa mu ssaza Ssingo Mityana.