Hellen Nandugga ayitibwa maama Angel agambibwa okuba nga yawambiddwa mu district ye Ssembabule, asaangiddwa nga yasuuliddwa mu kibira e Mityana ng’asaliddwako enviiri.
Mutuuze we Bbaamuwanga mu gombolola ye Mateete mu district ye Ssembabule.
Bba w’omukyala ono nga ye Charles Kalungi agambye nti mukyala we amunyumirizza nti yawambiddwa ku makya ng’agenda okukola abantu abataategeerekese nebamussa mu mmotoka, mwebaamukubidde kalifoomu teyazeemu kutegeera.
Agamba nti Omukyala yagenze okuddamu akategeera ng’atwaliddwa mu maka agamu, gyebaamusaliddeko enviirize.
Annyonyodde nti nga wayiseewo akaseera baamwambuddemu engoye, wabula waliwo omukazi eyazze namwetegereza n’abagamba nti Ono gwemuleese tajja kukola er yakyogedde emirundi ebiri.
Bazzeemu nebamusiba ekigoye nebamuzza mu mmotoka nebamuvuga okutuusa lwebaamusudde mu kibira ekimu e Mityana.
Agamba nti wabula yasobodde okutambula kiwalazzima okutuuka ku kkubo, n’afuna emmotoka gyeyayimirizza ng’edda Kampala, nemutwalako okutuuka ewa Jajja we abeera mu Kampala.#
Bisakiddwa: Jimmy Ssekabiito