Omukulembeze wekibiina kya National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu yekkokodde enguudo embi eziri mu bendobendo lya West Nile zagambye nti zigootaanyiza enteekateeka ye eyokunoonya akalulu era, bwaatyo asabye abantu mu district ye Obongi gyasookedde olwaleero bamulonde abawonye ennaku yenguudo embi zagambye nti ziremye gavument ya NRM okukola emyaka 35 gyemaze mu buyinza.
Robert Kyagulanyi Ssentamu nga weziweredde saawa munnaaana abadde yakatuuka mu district emu yokka eye Obongi ku district esatu zaalina okutalaaga olwaleero okuli Moyo ne Adjuman.
Robert Kyagulanyi ssentamu asinzidde mu district ye Obongi naagamba nti newankubadde yakedde mu bunyonyi okuva mu districy ye Yumbe eri kinnya nampindi ne district ye Obongi , kimutwaalidde asaawa mpitirivu okutuuka mu district ye Obongi mu kifo kyabadde alina okusisinkaniramu abalonzi olwenguudo embi ennyo.
Kyagulanyi agamba nti katonda abayambye nekiba nti obudde nebibeera nti bubadde bwamusana singa bibadde biseera nga byankuba tebandisobodde kutuuka, era ono yewuunyiza enguudo gavument zeyeewana nazo nti ekoze mu kitundu kya West Nile gyeziri.
Ono oluvudde mu Obongi ayolekedde district ye Moyo wabula olugendo lwe luzeewo omukoosi okumala esaawa nnamba nekitundu olwoluguudo olukulu oludda mu district ye Moyo okubooga olwamazzi agaalusalako.
Emmotoka ennene zokka zezisobodde okusomoka amazzi gano agawezaako kilometer nnamba era abamu bakozeseza maato agaasibwaako abatuuze okusomoka okutuuka emitala..
Emmotoka okuli ezabannamawulite nazo tezisobodde kusomoka mazzi gano ekiretedde olugendo okusanyalala okumala akaseera.
Kyagulanyi mukwogerako nebannamawulire ku mbeera eno, agambye nti enguudo nga zino zandibadde zikolebwa wabula ensimbi ezandizokoze zibbibwa mu buli bwenguzi nokusaasaanyizibwa ku bintu ebitayamba ggwanga nga okugula ebyokulwanyisa ebyolutatadde ate ebikozesebwa okulwanyisa abawakanya gavument