Omukulembeze wekibiina kya National Unity Platform asuubiza abantu be Busoga okuzaawo ekitiibwa kyekitundu kino ngazaawo amakolero agaali mu kitundu kino nokutereza omusingi gwebyenjigiriza ekitundu kino kwekyaali kiyimiridde byagambye nti byasaanyizibwaawo gavument eno mu ngeri engenderere.
Robert Kyagulanyi asinzidde mu district ye Mayuge gyakubye olukungaana lwe olusoose olwaleero,naagamba nti Busoga edda nedda yamanyibwanga nnyo nti kitundu kyamakolero agaasangibwanga mu district ye Jinja era abantu baayo baafunanga emirimu, wabula olwaleero amakolero gano gasaanawo kati ekitundu kye Busoga kyekimu kweebyo ebisinga obwaavu mu Uganda.
Kyagulanyi ssentamu awadde ekyokulabirako nti amakolero agaliyo mu kiseera kino naddala ega sukaali, gaganyula bagwiira abantu be Busoga balinga baddu, nga nebikajjo byennyini byebeerimira tebasobola kugereka beeyi yaabyo, abagwiira bannanyini kampuni bebagereka ebeeyi ekisinze okusiba ekitundu kino mu bwaavu obuwunya nokuwunya.
Cue in ………..Kyagulanyi Ssentamu Mayuge
Robert Kyagulanyi Ssentamu ku byenjigiriza agambye nti Busoga yaali emanyiddwa nnyo nti ekwaata kifo kyakumwanjo nnyo mu byenjigiriza olwamasomera agaali agamaanyi okwaali Namasagali College namalala, Busoga College Mwiiri gagambye nti omutindo gwaagwo gwaagwa mu ngeri egenderere, kyagambye nti olutuula mu ntebbe yomukulembeze weggwanga nga bannansi bamweesize, ekitiibwa kya Busoga mu byenjigiriza kijja kuzibwaawo.
Robert Kyagulanyi Ssentamu akunze abantu be Busoga, okuvaayo mu bungi bamuyiire akalulu ate bakakuume, naagamba nti alina essuubi ddene nnyo nti singa buli omu alonda ate akalulu nekakuumibwa butiribiri, NRM ejja kubeera mbuyaga ezikunta.
Ono abasabye nti olumala okulonda tebava wabalondedde, babeerewo bakuume akalulu ate beekolemu ttiimu ezigenda okununula akalulu, naagamba nti singa bakwaatira wamu Uganda ejja kukyuusa obukulembeze okuyita mu kalulu ekibadde tekibangawo mu ggwanga okuva lweryaafuna obwetwaaze
Ono mu kiseera kino ayolekedde district ye Iganga gyanaava amalirize ne district Bugiri olwaleero