Omukka omweru gufulumye okuva mu Sistine Chapel ba Kaliddinaali 133 gyebamaze ennaku 2 nga bevumbye akafubo k’okulonda Paapa addako ow’omulundi ogwe 267.
“Habemus Papam” ekiri mu lu latini ekivvuunulwa nti Tufunye Paapa.
Cardinal Dominic Mamberti yaasuubirwa okulangirira erinnya lya Paapa alondeddwa.