Police ekutte omujaasi agambibwa okudduka mu ggye ly’eggwanga erya UPDF ne yegatta ku kabinja k’abayeekera aka ADF abagambibwa okutigomya Uganda ne Congo.
Omukwate ye Hassan Mustafa Ndalihe wabula nti amannya abadde yagakyusa nga yeyita Lilian Nahwima.
Kigambibwa nti abadde mu kabinja ka ADF emyaka egisukka 8, nga yenyigira mu bikolwa eby’ekitujju ebizze bikolebwa ADF mu Uganda.
Yakwatiddwa ekitongole kya police e ekirwanyisa obutujju ekya Anti Terrorism Task force.
Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga, agambye nti omukwate yadduka mu magye mu mwaka 2016 okwegata ku ADF mu bukulembeze bwa Ali Isma.
Enanga agambye nti Ndalihe yakwatiddwa mu bitundu bye Serere, ng’aliko essimu zeyabadde akuba n’ekigendererwa eky’okukola obulabe ku bantu mu district ye Buyende.
Omwogezi wa police agamba nti yandiba nha yayingidde eggwanga omwezi oguwedde ogwa February 2024 n’ekigendererwa ekyokukola obulabe ku bannauganda.#