
Omubaka wa Makindye West Allan Ssewanyana akwaatiddwa enkya yaleero, naggalibwa ku Police e Katwe gyabadde agenze okubaako ensonga zeyenyonyolako.
Omubaka ono agambye nti sabiiti ewedde yakwaatibwa wabula naayimbulwa ku kakalu ka Police naalagirwa olwaleero addeyo ku Police eno yenyonyoleko, nga olwaleero bwazeeyo, baggalidde muggalire nti babadde bamunoonya nokumunoonya olwolukungaana lweyakubye olulala mu kitundu kye olumenya amateeka.
Omubaka ono Cbs gwegwikiriza ngayogerako nabantu ababadde bagenze okumulaba ku police, agambye nti akooye police okulinyirira eddembe lye.
Wabula cbs radio eno bwetuukiridde omwogezi wa Police mu Kampala nemiriraano Patrick Onyango kukukwaatibwa kwomubaka ono, asese busesi essimu nagigyako.