Ssaabasajja asiimye nággulawo olukiiko lwa Buganda olwa 31.
Olutuula lukubiriziddwa Owek.Patrick Luwaga Mugumbule ngáyambibwako omumyuka we Owek. Ahmed Lwasa.
CCucu asiimye neyekubya ebifaananyi n’abaami abaggya abeyanzizza Obwami mu lutuula oluggulawo olukiiko olwa 31.
Abaami abaggya beyanzizza obwami okuli ba minister n’abakiise
Olutuula olw’engeri eno ng’abakiise bonna webali lubadde lwakoma mu 2019, olwa Covid 19 eyabalukawo ku ntandikwa ya 2020.
Katikkiro waBuganda Charles Peter Mayiga ayanjudde abagenyi n’abantu abenjawulo abetabye mu lutuula;
Nabagereka Sylivia Nagginda
Nalinnya Lubuga Agnes Nabaloga.
Omulangira Kintu Wasajja
Nalinnya Nakabiri
Omulangira Crispin Junju Kiweewa
Omumbejja Sarah Katrina Ssangalyambogo
Omulangira Felix Muteesa
Omulangira Daudi Chwa
Omulangira Fredrick Walugembe
Ba katikkiro abaawummula Owek.Mulwanyammuli Ssemogerere ne Owek. Dan Muliika.
Bishop Henry Katumba Tamale ow’obulabirizi bwa West Buganda.
Msgr Charles Kasibante Chancellor w’essaza ekkulu erya Kampala.
Rev.fr.John Kibuuka Bbosa Owa Orthodox Church e Namingoona.
Abakiise, abataka abakulu b’obusolya,ba minister ba Kabaka, abaami ab’amasaza n’abamyuka babwe, Omutaka Namuyonjo okuva e Bugerere naye abaddewo.
Abakulembeze mu buweereza bwa government eya wakati nábalala.