Olusirika lw’abakulembeze b’obwakabaka bwa Buganda olukulungudde ennaku essatu ku Nile Hotel e Njeru mu ssaza Kyaggwe lukomekkerezeddwa.
Abalwetabyemu bakubiriziddwa okuteeka mu nkola byonna ebikubaganyiziddwako ebirowoozo ku lwÓbulungi bwa Buganda.
Lutambulidde ku mulamwa ogugamba nti Okunnyikiza Federo wébikolwa aluubirira okutumbula embeera yábantu.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga bw’abadde aluggalawo asabye abakulembeze, okubeera olujegere oluyunga abantu ba Ssabasajja ku buli ntekateeka ereetebwa.
Abeebazizza olwébirowoozo ebitwala Buganda mu maaso byebaleese,era naawa obweyamo nti byakutunulwamu era bingi ku bbyo bissibwe mu nkola mu mwaka ogusembayo mu Ntekateeka Namutayiika ekomekkerezebwa mu 2023.
Mu ngeri eyenjawulo Katikkiro asabye abakulembeze okumanya enteekateeka zÓbwakabaka zonna,bazitegeere era bazigoberere, kyokka nabakuutira okukolera mu bwerufu okwewala okuswaza Buganda.
Alipoota yébikoleddwa mu Nteekateeka Namutayiika eyakatambulako emyaka ena, eyayanjuddwa Omumyuka asooka owa Katikkiro Owek Prof Dr Twaha Kawaase Kigongo, ebitundu 93% ebyenteekateeka eno bituukiriziddwa.
Ebitundu 7% ebisigaddeyo byakukolwako mu bbanga eryomwaka ogusigaddeyo.
Ensonga endala ezitunuuddwamu kubaddemu Okutumbula ebibiina byÓbwegassi ebirina akakwate ku Bwakabaka, kko n’Okutumbula project ya Mmwanyi Terimba ne kampuni ya Mwanyi terimba limited. Ensonga eno ewomeddwamu omutwe minister omubeezi owébyobulimi nÓbusuubuzi Owek Haji Hamis Kakomo.
Enteekateeka yÓkwongera ku bungi bw’eby’ettunzi Obwakabaka bwebikola kko nÓkwongera enteekateeka yébyettunzi mu Bwakabaka, ewomeddwaamu omutwe omumyuka owookubiri owa Katikkiro era omuwanika wÓbwakabaka Owek Robert Waggwa Nsibirwa.
Enteekateeka yÓkuyingiza abantu mu nkola eyatuumwa Tereka, Fissa, Siga nga tukozesa Tekinologiya nÓkweyambisa empuliziganya ya Buganda eya K2 , eyanjuddwa Omuk.Authar Mawanda.
Oluvannyuma lw’Olusirika luno Katikkiro wa Buganda nga yabadde omulambuzi omukulu wamu nábakulembeze bonna, balambudde ebiyiriro bye Kalagala mu Kyaggwe ebisamgibwa ku mugga Kiyira.
Balambuziddwa Omuk Victoria Kayaga Kiggundu okuva mu Buganda Heritage and tourism Board.
Olusirika luno lwetabiddwamu ba jajja abataka b’obusolya,ba minister,ab’amasaza,ababaka b’olukiiko lwa Buganda,n’abakulira ebitongole by’obwakabaka.