Namungi w’omuntu akedde kweyiwa mu Bulange e Mengo ewategekeddwa olusiisira lw’eby’obulamu.
Olusiisira lutegekeddwa ekitongole kya Kabaka Foundation, nga kiyambibwako ministry y’Obwakabaka ey’ebyobulamu, ne ministry y’ebyobulamu eya government eyawakati.
Mu lusiisira luno mulimu okukeberwa, okujanjabwa, okugemwa endwadde, n’okusomesebwa ku bikwata ku ndwadde.
Obujanjabi buno bwa bwereere mu lusiisira era nga lugenda kumala olunaku lumu lwokka.#