Leero ennaku z’omwezi ziri 27 September,2023 lunaku lwansi yonna olw’ebyobulambuzi.
Olunaku luno lwasooka okukuzibwa mu mwaka gwa 1980 nga lwategekebwa ekibiina ky’ensi yonna ekikola ku by’obulambuzi ki United Nations World Tourism Organisation.
Olunaku luno lwagendererwamu okumanyisa abantu ebirungi ebiri mu by’obulambuzi omuli ebitonde n’ebyo ebikoleddwa abantu n’ebifuuka ebyenkizo kukumanya kw’omuntu.
Minister w’ebyobulambuzi mu Bwakabaka bwa Buganda Owek Anthony Wamala agamba nti ng’eggwanga lyefumiitiriza ku lunaku luno olw’ebyobulambuzi, banna Uganda bonna basaanye okulambula ebintu ebyenjawulo ebifa mu ggwanga lwabwe .
Mungeri yeemu asabye government okuyambako abantu abali mu by’obulambuzi okuddamu okusitula ebyobulambuzi mu ggwanga.
Eby’obulambuzi bye bimu ku bintu ebiyambako amawanga okuyingiza ensimbi.
America ekwata ekifo kisooka munsi yonna ku mawanga agasinga okufuna ensimbi ennyingi okuva mu bulambuzi.
Spain kyakubiri, France kyakusatu.Thailand,United Kingdom,Italy Australia n’endala nezigoberera.
Uganda eri mu kifo kya 95 ng’eyingiza obukadde bwa dollar ya America 918,000,000$ buli mwaka.
Olunaku lw’ebyobulamuzi wano mu Uganda lukwatiddwa Hoima mu kibuga ekimanyiddwa ng’ekibuga ky’amafuta – Oil city.
Lutambulira ku mulamwa ogugamba nti: “Okussa rssira ku by’obulambuzi ebitakosa butonde bwansi”.#