
Olukiiko olufuzi olwekitongole kya KCCA olumanyiddwanga KCCA executive committee, lweralikirivu olwembalirira yekitongole kino eyomwaka gwebyensimbi 2021/2022 eyasaliddwa, abakulu ku lukiiko luno kyebagambye nti kyandiremesa emirimu mu kitongole kino okutambula.
Ekitongole kino mu mbalirira yomwaka guno ogugenda maaso kyaaweebwa ensimbi obuwumbi 520 nga ku zino kuliko obuwumbi 290 ezaava mu gavument ya Uganda songa obuwumbi 230 zaava mu African Development bank nga zakukola enguudo zomukibuga.
Wabula mu mwaka gwebyensimbi 2021/2022 ogukyaali mu kuteekebwateekebwa ekitongole kya KCCA kyaawereddwa obuwumbi 406 nekireetawo enjawulo yabuwumbi 114 ekireese abakulembeze mu KCCA nga bakukuluma.
Loodi meeya wa Kampala ssaalongo Elias Lukwago mu lukungaana lwabannamawulire ku City Hall enkya yaleero, agambye nti ngabakulembeze babannakibuga okusala embalirira ya KCCA tebagenda kukikkiriza, era ono alangiridde nti sabiiti eno bagenda kutuula nga olukiiko basalewo ekyokukkola bategeeze ministry yebyensimbi, nti okusala ensimbi za KCCA bakigaaanyi.
Ssaalongo Elias Lukwago agambye nti gyebuvuddeko, ekitongole kino kyaatongoza enteekateeka nnamutayiika eyatuumibwa Kampala Strategic Plan eyomwaka 2020/2025 nga mu nteekateeka eno, ensimbi trillion 7 zezaali ezokugisaasaanyaako omuli okuzimba enguudo, okuzimba obutale nokuzimba emyaala, wabula ekyeewunyisa nti ate mu kifo kya gavument okwongera ku mutemwa gwensimbi zeyandibadde ewa KCCA ate yasaze nsale.
Okusinziira ku Lukwago, wakiri buli mwaka gwebyensimbi gavument yandibadde ewa KCCA trillion 1 nobuwumbi 200 bweeba yakussa mu nkola enteekateeka nnamutayiika eyokukulakulanya ekibuga ekyeegombesa nga bweyatongezebwa, wabula ete neezo entono ezibadde ziweebwa KCCA zaasaliddwa.
Nensimbi eziva mu kitongole kya Uganda Raod Fund eziyambako KCCA okulabirira enguudo nazo zaasaliddwa okuva ku buwumbi 30 okudda ku buwumbi 26.
Ekibuga Kampala kirimu enguudo eziweza obuwanvu bwa Kilometer 2110 wabula enguudo zokka enkube kkolaasi ziri 616.
Okusinziira ku nteemateema ku nsimbi obuwumbi 406 ministry yebyensimbi zegamba nti zegenda okuwa KCCA mu mwaka gwebyensimbi oguggya 2021/2022, Lukwago agambye nti bwebazibaganyiza amagombolola gaawereddwaako obuwumbi 69, nga Kampala Central yatutte obuwumbi 16, Makindye obuwumbi 14, Nakawa obuwumbi 14, Kawempe obuwumbi 11, obuwumbi 330 zezaasigadde ku kitebbe kya City hall okutambuza emirimu.
Nensimbi ezigenda okusasasula emisaala gyaba kansala abaneeyunga ku nkiiko za KCCA okuviira ddala ku divison councils okutuuka ku CITY hall mu bitundu ebippya ebyaasalibwaamu akakiiko kebyokulonda ebigenda okufuna ba kansala abakikirira, mu mbalirira ya KCCA eyomwaka ogugya 2021/2022 tezaatereddwamu.
Ssaalongo Elias Lukwago bano abawereza obubaka nti akalulu bakanoonye nga bamanyi nti emisaala egyokubasasula tegitereddwa mu mbalirira ya KCCA okugyako nga waliwo ekikyuusa, Ministry yebyensimbi neyongera KCCA ensimbi