Olukiiko olufuzi olwe kibiina kya JEEMA olwatudde olunaku lwe ggulo lwayisiza ekiteso kino olwe mbeera ye byobufuzi ekoseddwa ekirwadde kya COVID 19.
Ekiteeso kino kigenda kwanjulwa eri tabba mirukka w’ekibiina kya Jeema atandise mu butongole ekya ya leero ku Tal Cottages e Kabuusu.
Wabula, waliwo abatuula ku lukiiko lwa National Council abagamba nti obukulembeze bwongezebweyo okumala mwaka gumu nga embeera ya COVID 19 bweterera.
Obukulembeze w’ekibiina obukulemberwa Asuman Basalirwa ekisanja kyabwe ekye myaka 5 kyawedeko da nga kakati banna kibiina okuva mu ggwanga lyonna bebasalawo ekidako kunsonga eyaletedwa National Council.
Omwogezi w’ekibiina kino Abdunoor Kyamundu agambye nti delegates Conference eyinza okugoba ekiteeso oba okikikiriza nga kati balinze banna kibiina okusalawo kunsonga eno ey’okwongezaayo ekisanja ky’obukulembeze.
cbs 88.8 news desk