Omukulembeze we ggwanga, Yoweri Museveni bweyali ayongerako eri eggwanga gyebuvuddeko, yategeeza nti gavumenti yali yakuddamu okugaba emmere, eri abantu abaakosebwa omuggalo gwa covid 19 naddala bamufuna mpola mu bituntu bye ggwanga eby’enjawulo.
Mu nteekateeka yokugaba emmere eyasooka, gavumenti yagabira abantu abali mu Wakiso, Mukono, Kampala nabamu ku bakateyamba nabalala nga kino kyakolebwa amagye wamu ne Ministry evunaanyizibwa ku nsonga za Kampala.
Wabula, ensonda mu cabinet zitegeezezza CBS nti enteekateeka eyo kuddamu okugabira abantu emeere yayimirizibwa oluvanyuma lwa gavumenti okusalawo okukyusa ssente ze nteekateeka eyokuggula emmeere ate neziteekebwa mu kuteekateeka okuggulawo amasomero.
Cabinet egamba nti ebye meere okugabwa era byayimiriziddwa oluvanyuma lwa President okuggulawo sectors ezenjawulo okuva ku muggalo abantu nebaddamu okukola.
Minister omubeezi avunaanyizibwa ku nsoga ze biggwa tebilaze mu ofiisi ya Ssabaminista, Ecweru Musa agaanye okugaana oba okkukiriza ku lwaki cabinet yasazzizamu enteekateeka yo kuddamu okugaba emmere.
Vulugu ow’enjawulo yetoobeka mu kugaba emmere mu nteekateeka eyasooka ekyavirako nabakozi okuva mu Ofiisi ya Ssabaminista okuli neyali Omuwandisi owe nkalakalira mu kitongole kino nabalala okuvanaanibwa emisango egyekuusa ku bukenuzi.
xxxxxxxxxxxxxxxxxxxxx