Twaniriza abagenyi baffe n’abantu baffe bonna abazze wano olwaleero mu Lubiri, bazze okutwegattako nga tujaguza n’okujjukira amatikkira ag’emyaka 30.
Twebaza Katonda atukuumye emyaka egyo era n’atusobozesa okukulembera abantu baffe.
Ku mukolo guno twagala okwebaza n’okusiima abantu mu biti eby’enjawulo, mu biseera eby’enjawulo abaakolerera ennyo Obwakabaka.
Okusooka twebaza n’okusiima kungi abantu bangi abaavaayo nga nnabe atulumbye era abamu nebafiirwa obulamu bwabwe.
Mu abo mwalimu Abalangira, Bannalinnya, Abambejja, Abataka, Bannaddiini, Abakungu, Abasuubuzi, Abasirikake n’abantu ababulijjo.
Abo balwana nebakuuma ekyoto nga kikyayaka mu Bwakabaka.
Abantu abo kwekwalukirwa enteekateeka z’abantu baffe bonna gyebaali, okulwanyisa effuga-bbi nga tetwerabidde n’abaakekeza ennyago.
Mu kiti kino, twebaza abataka n’abakulu bonna abaakuuma omwoyo gwa Buganda ogutafa okumalira ddala emyaka 27, era oluvannyuma nebakola enteekateeka zonna ez’okutikkira Kabaka mu kiseera ekyo.
Newankubadde ng’ebbanga lyayitawo lingi ng’emikolo tegikolebwa, naye baakola nnyo okulaba ng’emikolo gyonna gikolebwa mu butuufu bwagyo era Kabaka n’atuula ku Nnamulondo.
Era mu kiti ekirala, twebaza nnyo abo abaaweereza betwatandika nabo nga bakola nga bannakyewa nga n’ebikozesebwa tewaali, bano mu butetenkanya obungi baateekawo embeera eraga nti Obwakabaka buzzeewo era nga kirabika nti weewaawo webuli.
Twebaza abantu bonna abaawaayo ebiseera byabwe era n’ensimbi okutambuza Obwakabaka.
Newankubadde ng’obwakabaka bwaddawo, naye tebwafuna buyinza, tebwafuna buyinza okukola emirimu nga bwebwakolanga edda okuviira ddala ku ntandikwa yabwo.
Okuva edda, bajjajja ffe baalina omwoyo ogw’okukolera awamu era nga batetenkanya nnyo, omwoyo ogwo gwegutuyambye okukolera awamu nga bajjajjaffe bwebaali.
Tusobodde okwerwanako mu by’obulamu ne mu by’enfuna era ne mu mbeera z’abantu baffe okutwalira awamu n’ebyobulimi tubizizzaamu amaanyi.
Kino kiraga nti bingi bisoboka okukolebwa era kino kyoleka bulungi lwaki twettanira enfuga egabanya obuyinza abamu gyebayita Federo.
Mu Federo buli kitundu kyekulaakulanya, awonno Uganda n’ekulaakulana.
Ng’oggyeeko eby’enkulaakulana mu byenfuna, Obwakabaka bugasse abantu baffe nga buyita mu mipiira gy’Ebika n’emipiira gy’Amasaza.
Kaakati tusibirira abantu baffe entanda.
Obwakabaka bwaddawo era tubwagala nnyo, naye waliwo abatabwagala, n’olwekyo temubongoota!
Abavubuka tubaagala nnyo era mutulaze omukwano n’obwagazi era mmwe ssuubi lya Buganda, wabula twagadde okubalabula ku nsonga nga bbiri;
Ensonga esooka, temuva mu byalo era temutunda ttaka lyammwe, mu bugumiikiriza n’okukola ennyo tujja kubayamba okubatuusaako enkulaakulana eyo yonna gyemuli.
Ensonga ey’okubiri, Temubuzaabuzibwa kutwalibwa kukola mirimu egitategeerekeka, okutwalibwa mu mirimu mu nsi ezeebunaayira abantu baffe gyebayisibwa ng’abaddu era n’abamu nebafiirayo.
Abo ababatwala okukola ebweru tebalina kirungi kyonna kyebabaagaliza, emitima gyabwe simirungi naye bbo bakifunamu nnyo.
Ng’amaze ekyo njagala okwogerako ku nsonga ey’obuvubi.
Mu kiseera kino omulimu gw’obuvubi gugootaanye nnyo, kino kikosezza abantu bangi naddala abavubuka kubanga abavubuka bangi baazaalibwa ku mbalama z’ennyanja era kwebabeera. Abavubuka bwebabeera nga tebasobola kuvuba kiba kyabulabe nnyo eri eggwanga era abavubUka abo bayisibwa bubi nnyo , ensonga eno kisaanidde ekolebweko mangu.
Gavumenti yaffe ejja kwongera okuwagira abavubuka ng’eggyo ebitone byabwe mu mpisa n’okwekulaakulanya.
Tukubiriza abantu baffe beeyongere okubeera obumu n’okulowooza ku Buganda ey’enkya..
Abo abasoma Bayibuli, mujja kumanya nti mu kitabo kya Lukka atugamba nti Yesu yennyini lweyasooka okuyigiriza yali yaakamala emyaka 30, ekyo kitegeeza nti omulimu ogwaffe gwakatandika butandisi.
Mbasiibula nga mbagamba nti Mukama abakuume, mwebale nnyo.
Bikungaanyiziddwa: Kamulegeya Achileo Kiwanuka