Ekibiina kya FDC ekiwayi kye Najjanankumbi, kirabudde government ne URA nti singa tebatuula n’abasuubuzi nebagonjoola ensonga z’emisolo gyebagamba nti gibanyigiriza, nti nabo bagenda kubegattako boolekere ekibuga batandiike okwekalakaasa.
FDC egamba nti emisolo egisoloozebwa abasubuuzi gisusse obungi, nanokolayo ogwa Withholding tax, Operation tax, Income Tax, Ware house tax, URA Value Added Tax, n`omusolo gwa Licence.
President wa FDC Eng Patrick Amuriat Oboi, bino abyogeredde mu lukungaana lwa bannamawuliire olutudde olutudde e Najjanankumbi nti tayinza kwetuulako bwetuuzi, nga balaba government esuula eby`obusubuuzi by’eggwanga.
Mu ngeri Dr.Kiiza Besigye asinzidde ku kitebe kyékiwayi kya FDC ekya Katonga Road, nágamba nti kyekiseera abasuubuzi begatte ku bannabyabufuzi okubaako enkyukakyuka ezómuggundu, zebaleeta mu ggwanga, omuli némisolo gyebagamba nti gibanyigiriza.
Wabula police ebalabudde nti egudde mu lukwe, nti waliwo bannabyabufuzi abatadde ensimbi mu bamu ku bantu abeyita abasuubuzi okukuba abateetabye mu kwekalaakaasa kuno, nga babalumya netegeeza nti yakukangavvula buli aneetaba mu butabanguko obwekuusa ku kwekalakaasa.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyisigire agambye nti Police yakuyambibwako amagye kibuga kyeggwanga ekikulu Kampala, okusobozesa abasuubuzi okuggula amaduuka gaabwe awatali kutiisibwatiisibwa kwonna.
Bisakiddwa: Musisi John ne Kato Denis