Obwakabaka bwa Buganda bulangiridde enteekateeka eyenjawulo egenda okuyitwamu enzikiriza zonna okusaawo essaala ey’enjawulo, okwebaza Katonda olw’Obulamu bwa
awadde Maasomooji Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.
Okusabira empologoma kuno kugenda kutandikira mu mizikiti gyonna ku friday, abadiventi ku Saturday, saako aba pentecooti, Eklezia ne kkanisa ya Uganda ebuna wonna ku sunday.
Enteekateeka eno egendereddwamu okwetegekera amazaalibwa ga Ssaabasajja ag’emyaka 68, agagenda okubaawo nga 13.04.2023 mu Lubiri e Mengo.
Mu nteekateeka yeemu, Ssaabasajja Kabaka asiimye okusimbula emisinde gy’amazaalibwage mu lubiri e Mengo, nga 16 April,2023
Bwabadde asisinkanye abalangira n’abambejja be Ssanje mu Mbuga ya Bulange e Mengo,Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abakkiriza bonna okukozesa ekiseera ky’okusiiba beebaze omutonzi olw’obulamu bwa Ssabasajja.
Katikkiro mungeri yeemu asabye abataka abakulu b’Obusolya okukozesa tekinologiya ow’omulembe okutumbula ebika byabwe n’okubyagazisa abalala, nga bayita ku mitimbagano n’Okubiwandiikako ebitabo mwebanaafuna ensimbi.
Ssaababiito we Ssanje Omulangira Paul Kalema Lutayinzibwa nga yaakulembeddemu abalangira okujja mu Mbuga enkulu e Mengo, asabye wabeewo entekateeka eyenjawulo egenda okuyitwamu okuddaabiriza Olubiri lwe Nnangoma, lwagambye nti lwandyesenzaako abatamanya ngamba.
Mungeri yeemu Omulangira akubirizza balangira banne n’abambejja okujjumbira okugula emijoozi gy’emisinde gy’empologoma.
Bisakiddwa: Kato Denis