Government ya Uganda yakusaasaanya obuwumbi bwa shs 150 okuzaawo olutindo olwagwamu ku mugga Katonga, ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.
Olutindo luno lwagwamu ku nkomerero y’omwezi gwa May 2023, olw’omugga Katonga okubooga neguwaguza ekyasanyalaza ebyentambula.
Mu kiseera kino emmotoka entono baazikolera ekitundu wezisobola okuyita, wabula ennene ezeetikka ebintu tezinakkirizizibwa kuyita.
Ebimmotoka ebinene biyita Mpigi- Gomba, Ssembabule – Villa Maria.
Eng.Samuel Muhoozi akulira eby’entindo mu kitongole ki Uganda National Roads Authority ,agambye nti basoose kukolako olutindo olw’ekiseera oluvannyuma balyoke bazimbe olupya lutindo olupya olugenda okuziimbibwa ku nsimbi z’omuwi w’omusolo.
Agambye nti olutindo olupya lugenda kubeerako layini bbiri ezaawuddwamu, ng’olumu lutwala emmotoka okuva e Kampala okudda e Masaka, n’olulala luva Masaka okudda e Kampala.
Eng Samuel Muhoozi asinzidde ku lutindo lwo Katonga, amyuuka sipiika wa parliament Thomas Tayebwa bw’abadde alulambula, ng’ali wamu n’ababaka ba parliament.
Mu ngeri yeemu ategeezezza nti omwezi gwa November,2023 wegunagweerako emmotoka zonna zakuba nga zikkirizibwa okuluyitako.
Muhoozi agambye nti waliwo n’entindo endala eziri obubi okuli olwa Karuma, Ssezibwa nendala government zeteekateeka okukola, era nto governmenti esuubira ensimbi.#