Eyaliko minister wa Kabaka era omu ku batandisi ba radio y’obwakabaka CBS FM Owek hajji Mustafah Mutyaba aziikiddwa mu maka ge e Nakasozi Buddo mu ssaza Busiro.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter asiinzidde mu kuziika n’atendereza omugenzi olw’okuba nti abadde omuntu afuba okutuukiriza buli kintu ky’abadde asalawo okukola.
Wasooseewo okusaalira omugenzi ku muziki e Kibuli, ng’obwakabaka bukiikiriddwa omumyuka asooka owa Katikkiro Owek.Twaha Kawaase Kigongo.
Jjaja w`Obuyisiramu mu ggwanga Omulangira Kasimu Nakibinge, ayogedde ku mugenzi ng`omusajja abadde talya bigambo bye era ow’enkulaakulana.
Mathias Mpuuga ayogedde ku mugenzi nti yabalambika nnyo ku ngeri obukulembeze gyebukwatibwamu.
Yebazizza Owekitibwa Mutyaba okwagala obwakabaka namwebaza okubukolerera obulamu bwe bwonna.
Owek.Musitafah Mutyaba afiiridde mu ddwaliro e Mengo ku myaka 86 egy’obukulu.
Yazaalibwa mu 1937 afudde nga 24 August ,2023.
Yaliko minister w’ebyamawulire mu bwakabaka bwa Buganda, yakulirako ministry y’obuwangwa n’ennono mu Buganda.
Yeyakuliramu enteekateeka z’okutandika CBS radio ey’obwakabaka bwa Buganda, era w’afiiridde abadde omu ku ba director baayo.
Abadde muwandiisi w’e bitabo omugundiivu nga awandiise ebitabo ebirambika ku byenjigiriza n’ebyeddiini.
Owek.Mutyaba y’abadde nannyini kampuni eya Crane Books
Ebitabo by’awandiise
Ebyafaayo byobusiiramu
Kabaka Muteesa ku nsiko
Blasio Aliddeki
Omuvubuka Agunjuse
Prince Nuhu Mbogo
Obuwangwa n’ennono z’Abaganda
Ebiseera bya Chwa ne Muteesa II
n’ebirala.