Okusunsulamu abayizi abanagenda mu masomero ga secondary naamatendekero agaawaggulu kutandise olwaleero mu kibangirizi kya bannamakolero e Lugogo, kukomekerezebwa nga 2 February,2024.
Olusoma lw’abayizi mu senior esooka lutandike nga 19 February,2024.
Abayizi abasoba mu mitwalo 66 bebalina okusunsulwamu nga bano bebaaweza obubonero obubakkiriza okweyongerayo mu secondary , ssonga emitwalo 88,000 ebibuuzo bya PLE baabigwa era baakuddamu primary nabalala 12,300 tebaabituula.
Entegeka egguddwawo omuteesitesi omukulu mu ministry yebyenjigiriza Ketty Lamaro, wabula obubaka bwe abutisse director w’eby’enjigiriza ebisookerwako, Ismael Mulindwa.
Agambye nti amasomero gasanidde okussa ekitiibwa mu nteekateeka y’okusunuslamu abayizi nokuwandiisa abasaanidde ssikumala gatwala bayizi abamu nebasigalira emabega olwokuba tebalina nsimbi olwo ebifo byabwe nebitundibwa.
Mungeri yeemu ministry neeralikirivu olwomuze gwabasomesa abakyebulankanya ku masomero, nti kiviiriddeko abayizi bangi okugwa ebigezo era Ketty Lamaro mu bubakabwe, asabye abakulira amasomero okwongera amanyi mu kulondoola ensong eno.
Agambye nti gavumenti etaddewo enkola ezenjawulo okugezaako okutangira abasomesa okwebulankanya naye nti era waliwo abakyalemedde mu muze guno.
Kaminsona mu ministry yebyenjigiriza, Dr Jane Egau, ku lwolukiiko olusunsulamu abayizi mu nteekateeka eno, alabudde amasomero okukomya ebyokwekwasa nti abayizi bebawa ebifo tebagenda mu masomero ago, naagamba nti kano katego kakwagala kutunda bifo mu bantu abalala ababawa ensimbi ekifiriza abateesobola.
Okutwalira awamu amasomero naddala amanene gasazeewo okusigaza obubonero bwegwalira abaana omwaka oguwedde naabalala bongezzamu akabonero kamu oba 2 ku bubonero bwebatwaliddeko abayizi omwaka guno.
Kings College Buddo abawala ekomye ku 5 ate abalenzi 4.
Kawempe Muslim S.S abawala ekomye ku 7 ate abalenzi 6.
Lubiri SS abawala ekomye ku 9 ate abalenzi 8.
Mengo SS abalenzi nabawala ekomye ku 7.
Ndejje SS abawala nabalenzi ekomye ku bubonero 6.
Nabisunsa ekomye ku bubomero 7.
St Henry”s Kitovu ekomye ku bubonero 6 abawala nabalenzi.#
Bisakiddwa: Ddungu Davis