Olukiiko lwa Bakaliddinaali abawera 133 abatasussa myaka 80 egy’obukulu lutandise, mu kaweefube ow’okwekenneenya n’okulonda Paapa addako ow’omulundi ogwe 267.
Olukiiko luno ( Conclave) lutudde mu Sistine Chapel e Vatican.

Ba kaliddinaali baweerezza obubaka obusaba eklezia wa Katonda okubasabira mu nteekateeka eno ey’okulonda omusika w’Omutume Peter.#