Abaweereza mu Bwakabaka bwa Buganda baweereddwa amagezi okukola dduyiro buli kadde, okwewonya endwadde ezikwata emitima.
Abaweereza bano era basabiddwa balye emmere ekuuma emibiri, n’okwewala ebyokulya ebigezza nti kuba bino y’ensibuko y’ebirwadde ebizinda emitima.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga badde mu Bulange e Mengo bw’ abadde ayogerako eri abaweereza mu Bwakabaka abeetabye mu dduyiro wakati mu kwefumiitiriza ku ndwadde ezizinda emitima, n’agamba nti obulamu bw’abakozi obulamu kitundu ku nkulaakulana y’ebitongole ,Obwakabaka ne Uganda yonna.
Owek Mayiga mungeri yeemu alabudde ku balya emmere ennyingi ate nebamala ekiseera ekiwanvu nga batudde mu wofiisi nti bali mu bulabe, naabasaba balye eyo yokka eyoomugaso eri obulamu bwabwe.
“Omutima gwo ye engine y’obulamu bwo.
Ekintu kyonna ngoyagala okukifunamu olina okukiddingana.Okukola dduyiro ssi musono, kyabulamu.” -Katikkiro Mayiga
Agambye nti waliwo n’ekizibu ky’abantu abalya ennyo ennyama, nti nabo bateeka obulamu bwabwe mu katyabaga.
“Abantu ba wano bagala nnyo ennyama
Mukwano gwange yangamba nti oba ennyama emutta kemutte”
Katikkiro era abagala ennyo ennyama abawadde amagezi; “Bwoba obadde olya ebifi by’ennyama 3 wakiri lya kimu. Ddira ekifi kimu okisalemu obufi bungi”
”Bwotalya mmere ng’eddagala ekiseera kigenda kutuuka olye eddagala ng’emmere”
Minister w’ebyobulamu n’ebyenjigiriza, ekikula ky’abantu era yavunaanyizibwa ku wofiisi ya Nnaabagereka Owek Cotilda Nakate Kikomeko, agambye nti entekateeka ya dduyiro yakubunyisibwa mu bitundu bya Buganda.
Owek Ritah Namyaalo nga ye ssenkulu wa Healthy Heart Foundation asabye abantu mu Buganda ne Uganda yonna okukozesa emibiri ekimala,omuli okukomya ekufuweeta ebiragala omuli Shisha mu bavubuka.
Bisakiddwa: Kato Denis