Abavubuka mu Bwakabaka bwa Buganda baweereddwa amagezi okuteeka mu nkola ensonga ssemasonga 5 okuddukanyizibwa Buganda, n’okwekuuma obulwadde bwa siriimu, Okulaba ng’emyaka 25 egiyise bukyanga Ssaabasajja Kabaka awaayo omulembe guno eri Abavubuka tegifa ttogge.
Bw’abadde ayogerako eri Abavubuka ba Buganda wamu n’okukuza olunaku lw’okwefumiitiriza ku kawuka ka Mukenenya e Bulemeezi,Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti mu bisaanye okussibwako essira mulimu okukuuma ettaka n’okulikolerako, kubanga Obugagga kwebusibuka.
Katikkiro abalagidde okwefumiitiriza ennyo ne ku mulamwa gw’omwaka guno, era buli omu abeere musaale mukumalawo siriimu mu Uganda.
“Abavubuka twekuume mukenenya tuzimbe ensi yaffe”.
Katikkiro era atongozza ennambika y’Abavubuka mu Buganda ennyonnyola okwolesebwa kw’Obwakabaka kwebulina eri abavubuka mu bbanga ery’emyaka 10 egijja.
Minister w’Abavubuka ebyemizannyo n’ebitone Owek Robert Sserwanga Ssalongo asabye abavubuka mu Bwakabaka okugoberera ennambika eyayisibwa cabinet ya Ssaabasajja mu mwaka 2022, olwo bamanye entekateeka z’Obwakabaka ez’enkulaakulana eri Abavubuka.
Omwami wa Ssabasajja atwala essaza Bulemeezi Kangaawo Ronald Mulondo, agambye nti nga abaami b’Amasaza tebagenda kukoowa kuteeka bavubuka ku mwanjo mu nzirukanya y’Emirimu, kyokka naabasaba okubeera abeesigwa mu byebakola.
Omubaka akiikirira Nakaseke central mu Lukiiko lwa Buganda Allan Mayanja Ssebunya era nga Ono yaliko omuwandiisi mu Lukiiko lw’Abavubuka ba Buganda ,yeeyamye okukwasizaako Abavubuka mu ngeri ezitali zimu, okulaba ng’ebiruubirirwa by’okukyuua ekifaananyi ky’Abavubuka bituukirira.
Ssentebe w’Abavubuka mu Buganda Baker Ssejjengo yeyanzizza Ssaabasajja olwokukwasa Abavubuka omulembe guno , kyokka naawera nti ebisomooza Obwakabaka Abavubuka babiraba , era bakola ekisoboka okubisalira Magezi.
Olunaku lw’abavubuka mu Buganda lubaddemu okwekebeza akawuka, olusiisira lw’ebyobulamu, ebyoto, okwolesa ebitone n’ebirala.
Bisakiddwa: Kato Denis