• Latest
  • Trending
  • All
Obwakabaka bwa Buganda mu butongole bukungubagidde abadde sipiika wa parliament

Obwakabaka bwa Buganda mu butongole bukungubagidde abadde sipiika wa parliament

April 1, 2022
Katikkiro Mayiga alangiridde nti omulimu gw’okuzzaawo amasiro ge Kasubi guwedde oluvannyuma lw’emyaka 12 lwegaayokebwa omuliro – obulombolombo bwonna butuukiriziddwa

Katikkiro Mayiga alangiridde nti omulimu gw’okuzzaawo amasiro ge Kasubi guwedde oluvannyuma lw’emyaka 12 lwegaayokebwa omuliro – obulombolombo bwonna butuukiriziddwa

December 12, 2025
Ssentebe wa district ye Kitagwenda asindiikiddwa ku alimanda okutuusa omwaka ogujja 2026 – avunaanibwa gwakusaba bantu ensimbi ng’abasuubizza emirimu naatagibawa

Ssentebe wa district ye Kitagwenda asindiikiddwa ku alimanda okutuusa omwaka ogujja 2026 – avunaanibwa gwakusaba bantu ensimbi ng’abasuubizza emirimu naatagibawa

December 12, 2025
BannaNUP abaali begwanyiza okuvuganya mu kalulu ka 2026 ku bifo by’ababaka ba parliament nebatafuna kaadi – bekozeemu akabombo basigale nga bamugaso mu by’obufuzi by’eggwanga

BannaNUP abaali begwanyiza okuvuganya mu kalulu ka 2026 ku bifo by’ababaka ba parliament nebatafuna kaadi – bekozeemu akabombo basigale nga bamugaso mu by’obufuzi by’eggwanga

December 11, 2025
Alipoota ku nsimbi ezireeteddwa mu nkola ya Luwalo Lwange ow’omwaka 2025 – akawumbi ka shs kamu n’obukadde 760 zezireeteddwa

Alipoota ku nsimbi ezireeteddwa mu nkola ya Luwalo Lwange ow’omwaka 2025 – akawumbi ka shs kamu n’obukadde 760 zezireeteddwa

December 11, 2025
Dr.Sam Kazibwe omuweereza ku CBS agattiddwa mu bufumbo obutukuvu n’omukyala Sonia Babirye

Dr.Sam Kazibwe omuweereza ku CBS agattiddwa mu bufumbo obutukuvu n’omukyala Sonia Babirye

December 10, 2025
Buganda ne bannamikago batongozza enteekateeka y’okusonda ensimbi ez’okugula eryato erinassibwako eddwaliro eritambulira ku mazzi

Buganda ne bannamikago batongozza enteekateeka y’okusonda ensimbi ez’okugula eryato erinassibwako eddwaliro eritambulira ku mazzi

December 11, 2025
MTN ekuleetedde Enkuuka bando Bwaguuga – osigale ng’owuliziganya n’abantu nga bw’onyumirwa enkuuka nga 31 December,2025

MTN ekuleetedde Enkuuka bando Bwaguuga – osigale ng’owuliziganya n’abantu nga bw’onyumirwa enkuuka nga 31 December,2025

December 10, 2025
Abantu 4 bafiiridde mu kabenje akagudde e Mubende abalala 20 bapooca – babadde bagenda kuziika

Abantu 10 bafiiridde mu kabenje akagudde e Busowa ku luguudo lwa Bugiri – Tororo

December 10, 2025
Bannauganda abakolera mu Nyakuron Market mu SouthSudan bali mu maziga olw’emmaali yabwe eyasirikkidde mu muliro

Bannauganda abakolera mu Nyakuron Market mu SouthSudan bali mu maziga olw’emmaali yabwe eyasirikkidde mu muliro

December 9, 2025
Mathias Walukagga agobeddwa mulwokaano lw’okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Busiro East mu kalulu ka 2026 – NUP esazeewo okuddukira mu kooti okuwakanya ensala eno

Mathias Walukagga agobeddwa mulwokaano lw’okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Busiro East mu kalulu ka 2026 – NUP esazeewo okuddukira mu kooti okuwakanya ensala eno

December 9, 2025
Police ekutte 2 abateeberezebwa okutemula omuyizi w’essomero lya Kitebi SS

Asse munne neyetwala ku police e Luweero – amulaanze kubba biscuit we

December 9, 2025
Akakiiko k’ebyokulonda kagobye Mutabwire Patrick Kyamukaate ku by’okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa parliament akiikirira abakadde – emikono gy’abamusemba tegiwera

Akakiiko k’ebyokulonda kagobye Mutabwire Patrick Kyamukaate ku by’okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa parliament akiikirira abakadde – emikono gy’abamusemba tegiwera

December 8, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Obwakabaka bwa Buganda mu butongole bukungubagidde abadde sipiika wa parliament

by Namubiru Juliet
April 1, 2022
in BUGANDA, Features, News
0 0
0
Obwakabaka bwa Buganda mu butongole bukungubagidde abadde sipiika wa parliament
0
SHARES
188
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Mugerwa Charles

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga awaddeyo obubaka bwa Buganda obukungubagira abadde sipiika wa parliament Jacob Oulanyah,mu nteekateeka eyakoleddwa ey’okukungubagira omugenzi ku parliament.

Katikkiro atambudde ne minister w’obwakabaka avunanyizibwa ku by’okwerinda, obuwangwa nennono Owek Kyewalabye Male, Minister w’ettaka, Obulimi, Obutonde bwensi eby’obusuubuzi ne bulungi bwansi Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo , Omumyuka w’omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Owek Ahmed Lwasa  n’omukungu David Ntege avunanyizibwa ku byabagenyi nebyekikungu mu Bwakabaka.

Katikkiro Charles Peter Mayiga ng’awandiika obubaka bw’okukungubagira Jacob Oulanyah mu kitabo ekyenjawulo ekyateekeddwa ku parliament,ali ku kkono sipiika omuggya Anita Among n’omumyuka we Thomas Tayebwa ayambadde bowtie

Katikkiro awandiise obubaka bw’okukungubagira omugenzi, mu kitabo ekyenjawulo ekyateereddwa ku parliament.

Ayogedde ku mugenzi ng’omuntu alese omukululo mu byonna byazze akola, era abadde ayagala ennyo byakola.

Amwogeddeko ng’omuntu abadde assa ekitiibwa mu bantu bonna naabo baabadde takaanya nabo.

Sipiika wa parliament omuggya omukyala Anita Among ali wakati ne Katikkiro Charles Peter Mayiga n’abebitiibwa abalala

Sipiika wa palament Anita Among yebazizza Katikkiro n’obwakabaka olwomutima gw’obwasseruganda n’omukwano obwakabaka gwebulina ku bantu abava ebweru wa Buganda.

Yeyamye nti obukulembeze bwa parliament obupya, bugenda kusoosoowaza nnyo ensonga z’obwakabaka okuli n’ensimbi zebubanja government eyawakati.

Sipiika Anita Among agambye nti wakwogera ne ssaabawolereza wa government ku nsonga zino, era mu nnaku ntono nnyo wakutegeeza Katikkiro ekinaaba kivuddeyo.

Katikkiro bwavudde eyo akyaddeko mu wofiisi y’akulira oludda oluvuganya government mu parliament Owek.Mathius Mpuuga Nsamba.

Sipiika Anita Among,omumyuka we Tayebwa,Katikkiro Mayiga n’omumyuka wa sipiika w’olukiiko lwa Buganda Owek.Ahmed Lwasa nga bali mu ofiisi y’akulira oludda oluwabula government mu Parliament Mathius Mpuuga

Katikkiro asisinkanyemu ababaka ba parliament abava mu Buganda nga bakulembeddwamu ssentebe wabwe, era omubaka wa Butambala Mohammed Muwanga Kivumbi.

Oluvanyuma Katikiro n’ababaka bano bogeddeko eri abamawulire, era Kattikiro Charles Peter Mayiga naabajjukiza nti mu byebakola byonna bajjukire nti Kabaka yekittaffe.

Abasabye okusoosoowaza ensonga ssemassonga ezobwakabaka n’obuteerabira kukiika mbuga bwebaba bafunyeewo akadde.

Akulira oludda oluvuganya gavument mu palament Owek Mathias Mpuga Nsamba naye yebazizza Obwakabaka, olwokubalambulako mu kiseera kino ekyokusoomozebwa parliament kyeriimu olwokufiirwa sipiika.

Ssentebbe wakabondo kababaka abava mu Buganda Mohammed Muwanga Kivumbi abuulidde Katikkiro nti ng’abakulembeze bakabondo, bagenda kukyalako embuga mu butongole babeeko ensonga zebategeeza Katikkiro.

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Katikkiro Mayiga alangiridde nti omulimu gw’okuzzaawo amasiro ge Kasubi guwedde oluvannyuma lw’emyaka 12 lwegaayokebwa omuliro – obulombolombo bwonna butuukiriziddwa
  • Ssentebe wa district ye Kitagwenda asindiikiddwa ku alimanda okutuusa omwaka ogujja 2026 – avunaanibwa gwakusaba bantu ensimbi ng’abasuubizza emirimu naatagibawa
  • BannaNUP abaali begwanyiza okuvuganya mu kalulu ka 2026 ku bifo by’ababaka ba parliament nebatafuna kaadi – bekozeemu akabombo basigale nga bamugaso mu by’obufuzi by’eggwanga
  • Alipoota ku nsimbi ezireeteddwa mu nkola ya Luwalo Lwange ow’omwaka 2025 – akawumbi ka shs kamu n’obukadde 760 zezireeteddwa
  • Dr.Sam Kazibwe omuweereza ku CBS agattiddwa mu bufumbo obutukuvu n’omukyala Sonia Babirye

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist