Bya Kato Denis
Obwakabaka bwa Buganda bwanjudde ebisuubirwa mu mbalirira yómwaka gwÉbyensimbi 2022/2023, esuubirwa okuwemmenta obuwumbi bwa shilling za Uganda 155.
Ebimu ku bisuubirwa okussibwako essira kuliko okumaliriza ennyumba Muzibwazaalampanga, okuzimba ebizimbe omunaava ensimbi eziyamba Obwakabaka , okugulira essaza lya Beene erye Buvuma eryato, Okwongera amaanyi mu byobulimi naddala emmerezo zémmwanyi nÓkulima emmere.
Byanjuddwa Omuwanika wa Buganda era nga ye mumyuka owookubiri owa Katikkiro Owek Robert Waggwa Nsibirwa, abadde asisinkanye akakiiko kébyensimbi, Okwekulaakulanya nÓkusiga ensimbi mu Bwakabaka mu Bulange e Mengo.
Owek Nsibirwa agambye nti waliwo nénteekateeka yÓbwakabaka okusitula embeera zábavubuka nébyemikono, okwongera okutumbula ebyempuliziganya,okulwanyisa endwadde mu bantu ba Ssabasajja, nga wano abagoba ba Bodaboda basuubirwa okubeera omumuli.
Ku byémbalirira yÓmwaaka gwébyensimbi 2021/2022 mu ogugenda kukomekkerezebwa mu mwezi ogwomusanvu omwaka guno 2022, kizuuliddwa nti ku nsimbi obuwumbi bwa shilling za Uganda 121 ezaali zaassibwa mu mbalirira eno, zayiseemu , nga Obwakabaka bwakufuna obuwumbi obuwera 123.
Owek Robert WagGwa Nsibirwa agambye nti kivudde ku buwagizi obuweereddwayo abantu ba ssabasajja ku mitendera gyonna, omuli abali ebweru wa Buganda abaagulira amasaza gonna Computer, okufunira abaami Bámasaza emmotoka, abámagombolola okubafunira pikipiki nénsonga endala nnyingi.