Obwakabaka bwa Buganda butenderezza abakulembeze ku mitendera egyenjawulo, bannabyabufuzi, ebitongole ne kampuni ezetabye mu kaweefube w’okugula emijoozi okwetaba mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka ejigendereddwamu okunnyikiza kawefube w’okulwanyisa endwadde.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga aliko abantu abenjawulo abaguze obujoozi, abubakwasirizza ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mengo.
Office ya ssentebe wa NRM era nga president aa Uganda eguze emijoozi gya bukadde bwa shs 50.
Hajat Hadija Namyalo ku lwa Office of the National Chairman ategeezezza nti omukulembeze wégwanga Yoweri Kaguta Museveni mweetegefu okwongera okukwasizaako Obwakabaka okumegga Mukenenya.
Katikkiro yeebazizza Omukulembeze w’eggwanga Gen Yoweri Kaguta Museveni ne ssaabasajja Kabaka olwakaweefube gwebataddewo okulwanyisa siriimu nga bakubiriza bannansi.
Mu ngeri yeemu yebazizza ne bannamikago omuli USAID , Uganda Aids commission ne ministry y’ebyobulamu olw’enteekateeka zonna zebakoze okulwanyisa siriimu, omwaka 2030 gugende okutuuka ng’afuuse lufumo.
Mu nsisinkanyo yeemu Super Supreme Mufi Sheikh Muhammed Ggalabuzi aguze emijoozi gya kakadde ka shs kamu, asabye abasiraamu nÁbantu ba Katonda okutambulira ku biragiro byÓmukama, naasaba banansi okweewala Mukenenya nga bayita mu ngeri zonna.
Mungeri yeemu ba minister okuli owa tekinologiya n’Okulungamya eggwanga Dr Chris Baryomunsi n’Omubeezi we Owek Joyce Juliet Nabbosa Ssebuggwaawo beegasse ku kaweefube w’Okugula emijoozi, nebeebaza Beene okubeera Omusaale mu kulwaanirira abantube.
Omubaka akiikirira Makindye Ssaabagabo David Sserukenya naye aguze emijoozi gy’emisinde n’Okuwaayo Ambulance 3 ezigenda okukozesebwa okutaakiriza abanaaba bakooye.
Akulira BMK group of Companies ne Hotel Africana Haji Haruna Kalule Kibirige, aguze emijoozi gya bukadde bwa shs bubiri era gimukwaasiddwa akulira ebigenda ku mpewo za CBS Omuk Haji Abbey Mukiibi, ono yeeyamye okwongera okuwagira entekateeka za Beene , nga bwegwaali mu kulwaanyisa obulwadde bwa Nalubiri.
Kampuni n’ebitongole ebirala bingi bireese ensimbi z’emijoozi gy’emisinde gy’Amazaalibwa g’Empologoma; mubaddemu Amaka g’Obwa president obukadde 5,Bank of Uganda obukadde 10 , Nivana obukadde 100 Obw’Amazzi n’ensimbi enkalu.
Uganda Bbaati obukadde 5,Quality Chemicals obukadde 10 , URA 5, National Drug Authority 5, KCCA obukadde 12 , KPMG obukadde 5 , Uganda Red Cross society obukadde 6.
Civil Aviation Authority 3.5 , Uganda breweries nayo ewagidde ,UMEME obukadde 5, Uganda Railway cooperation million 5,National water 5, Insurance Regulatory Authority 5m , ne East African roofings systems limited obukadde 2.
Mu balala abawagidde Emisinde kubaddeko aba Ttooke ,National population council, Beilla Uganda, Human diagnostics, Mwaanyi Terimba limited, I dental care, HTC n’abalala.
Bonna beebazizza nnyo Obwakabaka olwokubawa omukisa okuweetaba mu ntekateeka eno, era nebawera obutakoowa kuwagira Bwakabaka.
Bisakiddwa: Kato Denis