Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akinogaanyizza nti ennyonyi Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II gyeyatambuliramu mu August wa 2021, ngágenda e Germany okufuna obujjanjabi yali ya kampuni ya KLM, sso ssi ya president nga bwebiwulirwa.
Abadde ayogerako eri bannamawulire ku Mbuga ya Buganda enkulu mu Bulange e Mengo,nátangaaza ku nsonga eno.
Kino kivudde ku bigambo ebyayogeddwa Ssaabalamuzi wéggwanga Alfonse Owiny Dollo, bweyabadde agenze mu maka g’omugenzi Jacob Oulanyah e Muyenga okumukungubagira. Dollo yabadde ayogera ku bannauganda abeekalakaasa mu America nga bawakanya ekyókusaasaanya ensimbi zómuwi wómusolo okupangisa ennyonyi okutwala Jacob Oulanyah okujjanjabwa.
Ssaabalamuzi Dollo yayongeddeko nti “omukulembeze wammwe owénnono (gwatayatudde mannya) bweyatwalibwa e Germany mu nnyonyi yóbwa president, nebamusaasaanyizaako ensimbi zómuwi wómusolo nga temwekalakaasa”, Neyebuuza nti abekalakaasa ku lwa Jacob Oulanyah bakikola lwakuba mucholi!
Ebigambo ebyo byaviiriddeko abantu abamu okusikuuka emmeeme, nga bagamba nti byandibadde tebyogerebwa mu kiseera kino ekyókukungubagira Oulanyah, nti era bisiga obukyayi nókusosola mu mawanga, songa Jacob Oulanyah abadde mugatta bantu.
Akulira oludda oluvuganya government mu parliament Mathius Mpuuga naye yasinzidde mu maka gómugenzi Oulanyah navumirira ebigambo ebyo.
Katikkiro wa Buganda Charles Pater Mayiga asinzidde mu luku𝝶aana lwa bannamawulire, nagamba nti Oualanyah abadde Munnamateeka omulungi ddala, era sipiika wa parliament abadde olujegere olugatta abantu bonna.
Katikkiro agambye nti Oulanyah wafiiridde, ng’Obwakabaka bwa Buganda buli bumu n’Olukulembeze bw’ennono mu Lango, era enkolagana wakati w’Obwakabaka n’Obukulembeze bw’ennono mu Lango weeri. |
Asabye abakulembeze okukuuma ekitiibwa kyómugenzi, nga bewala okwogera ebintu ebitaliiko mitwe na magulu.
Agambye nti ebigambo ebitajja nsa bireetawo enkayana ezoongera okunakuwaza abénnyumba némikwano gyábagenzi, n’eggwanga lyonna okutwalira awamu.
Katikkiro Mayiga akinogaanyizza nti “Okufa kuleeta ennyike nékikangabwa era kuleeta abantu okwekyawa ennyo, kyova olaba tukubiriza abantu okukuuma obuntu bulamu ate nókubeera abakkakkamu embeera bwebeera enzibu ngéno eyókufiirwa”.
Asabye mukama asibe ekimu abaana bómugenzi Jacob Oulanyah n’aboluganda be mu kiseera kino ekizibu.