Obwakabaka bwa Buganda bufunvubidde okusazamu ebyapa by’ettaka, Hamis Kigundu nga ayita mu kampuni ya KIHAM bye yafuna ku ttaka lya Kabaka erisangibwa e Kigo mu Busiro.
Minister w’olukiiko ,cabinet, amawulire ,abagenyi era omwogezi w’obwakabaka, Owek Noah Kiyimba, ayogeddeko eri bannamawulire mu Bulange e Mengo, agambye nti ensonga za KIHAM n’obwakabaka ez’ettaka baazitwala eri commissioner w’ebyettaka era naabalagira okuzijja mu mawulire.
Agambye nti mu kiseera kino kibewunyisizza kampuni ya KIHAM okumenya ekiragiro kino n’atuuka n’okuvvoola abaweereza b’obwakabaka.
Owek Noah Kiyimba agambye nti obwakabaka ssi bwetegefu kuwoleza nsonga mu mawulire , wabula basaabulula obulimba bwonna, obuzze bwogerwa ku baweereza b’obwakabaka.
Obwakabaka era butadde kunninga ebitongole okuli NEMA n’ebirala ebirwanirira obutonde bwensi, okuvayo ku nsonga nga zino ezisanyawo obutondebwensi.
Hamis Kiggundu yategezezza nti ekyapa ky’ettaka kyalina tekiri ku ttaka lya Kabaka, wabula nti kiri mu ttaka lya Nnyanja.