Obwakabaka bwa Buganda busse omukago n’eddwaliro ly’e Mmengo okusomesa n’okutendeka abazaalisa mu Bwakabaka, mu kaweefube w’okukendeeza ku muwendo gw’abakyala abafiira mu ssanya.
Omumyuka asooka owa Katikkiro Owek. Prof Twaha Kaawaase Kikongo agambye nti Obwakabaka n’eddwaliro lye Mengo bazze bakolera wamu mu ntegeka z’okutumbula eby’obulamu.
Owek. Kawaase agambye nti Buganda eriko n’enkola ya Yinsuwa gyetegeka okwanjulira abantu ba Kabaka (Community Based Insurance-Yinsuwa ey’ekikungo) okuyamba abantu ba Kabaka okufuna obujjanjabi obutali bwa buseere.
Mu nteekateeka eno, abantu ba Kabaka baakubeeranga n’ekittavvu mwebateeka ensimbi ezisobola okubayamba nga bafunye okusoomoozebwa mu by’obulamu.
Owek. Kaawaase alambuludde ku mukago guno n’agamba nti nga bayita ku mikutu gy’Obwakabaka emitongole okuli CBS FM ne BBS Terefayina, abakugu okuva mu ddwaliro e Mengo baakuweebwanga omwagaanya okusomesa abantu ba Kabaka ebikwatagana n’okwetangira endwadde.
Ku lwa minister w’ebyobulamu mu Buganda, Owek. Noah Kiyimba agambye nti omukago guno wakati wa Buganda n’eddwaliro ly’e Mengo gulina ekiruubirirwa ekikulu kyakwongera ku basawo abakugu naddala abazaalisa, abasobola okuyamba ku ba maama n’abaana abawere obutafiira mu lutalo.
Owek. Kiyimba agambye nti Ssaabasajja Kabaka ayagala abantu be nga balamu, lwebasobola okukola ebinaakulaakulanya Buganda, bwatyo n’asuubiza enkolagana ennungi n’abakulu b’eddwaliro ly’e Mengo.
Akulira eddwaliro ly’e Mengo, Dr. Rose Mutumba agambye nti enkolagana eno yaakubayamba okutereeza omulimu gwabwe naddala nga bafunye abazaalisa bebatendeka okuva mu buli ssaza lya Buganda, okutaasa ku ba maama abali mu masoso g’ebyalo naddala ababadde bafiira mu bamulerwa abatalina bukugu.
Mu Uganda ebibalo biraga nti abakyala abasoba mu 16, bebafiira mu ssanya buli lunaku kyokka ng’obuzibu buno bwesigamizibwa ku bbula ly’abakugu abasobola okutaasa embeera ssinga eba eyonoonese.
Mu mukago guno, abasawo okuva mu ddwaliro e Mengo baakusomesa nga abakyala ab’embuto omugaso gw’okunywa eddagala mu malwaliro n’okuzaalira mu bakugu.
Mu ngeri yeemu kino kyakuyambako okukendeeza ne ku muwendo gw’abaana abawere abafiira mu ssanya n’abafa nga tebanaweza myaka 5 egy’obukulu.
Eddwaliro lye Mengo Woosomera bino nga liweza emyaka 126, litudde ku bwagaagavu bwa yiika 22, n’ebitanda okujjanjabirwa abalwadde ebiwerera ddala 300.
Lyatandikibwa era liddukanyizibwa Ekkanisa ya Uganda.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K