Minisita w’obuwangwa, ennono n’obulambuzi mu Bwakabaka bwa Buganda Owek. David Kiwalabye Male ayagala abantu bonna beesenza ku ttaka ly’obuwangwa balyamuke.
Owek.Male olwaleero asiibye alambula ebimu ku bifo by’obuwangwa okuli Amasiro g’e Wamala, Ejjinja Mawuuno e Kawempe, Kimbejja e Maganjo n’olubiri lwa Ssekabaka Kiweewa e Masanafu.
Minister alagidde ekitongole ekivunanyizibwa ku Ttaka mu Buganda ki Buganda Land Board okuwandiisa abantu bonna abesenza ku ttaka ly’e Jinja Kawempe, okumanya engeri gyebajjamu.
Ettaka ly’e jinja Mawuuno lyali liweza yiika z’ettaka 52 kati terikyawera,kuzimbiddwako amasomero, woteeri, ennyumba ezisulwamu n’ebirala.
Minister agambye nti Obwakabaka bulina okulwanirira ekitiibwa ky’ekifo kino kubanga kyabuwangwa, era alabudde nti bonna abesenzaako mu bukyamu bakujjibwako.
Mungeri yemu Owek David Kyewalabye Male alambudde ekifo kyebyobuwangwa n’ennono ekimanyiddwanga Kimbejja e Maganjo.
Kimbejja Maganjo wewasibuka abalongo ba Buganda era wewali no mutuba gwa Kaweesa.
Owek era asabye abakulembeze nab’ebyokwerinda okutakozesebwa Malindirizi, agasaatuuka n’okwekomya ettaka lyabalala.
Omulangira Luwangula Basajjansolo avunanyizibwa ku bifo bino byombi nabamu kubabikuuma, bategezezza Minister Kyewalabye nti balina okusoomozebwa kwabamu ku beyita abalangira, nti bebasinze okusanyawo ebifo ebyo nga babitemamu Poloti nebazitunda.
Bisakiddwa: Nakato Janefer