Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yayanjudde obubaka obusaasira eggwanga, olwokufiirwa sipiika wa parliament Jacob L’okori Oulanyah, eyavudde mu bulamu bwensi eno.
Agambye nti Oulanyah abadde kyakulabirako eri abakulembeze ku mitendera egyenjawulo.
Amwogeddeko nti abadde muntumulamu era ng’akolaganika naye.
Katikkiro abadde mu lusirika lw’abakulembeze ba Bugand, n’akinogaanya nti Obwakabaka bubadde n’empuliziganya ennungi ne Oulanyah,era nti abadde ategeera bulungi omulimu gwe.
Katikkiro awadde eky’okulabirako nti bweyagenda mu Acholi okukiikirira obwakabaka, ku mikolo gy’okujjukira emyaka 50 bukyanga Daudi Ocheng ava mu bulamu bw’ensi (Daudi Ocheng yaliko ssabawandiisi w’ekibiina ky’ebyobufuzi KABABA YEKKA) nti Jacob Oulanyah yoomu ku baamwaniriza mu kitiibwa.
Katikkiro Mayiga annyonyodde nti “namuwandiikira ebbaluwa ng’alondeddwa ku bwa sipiika ,nanziramu n’ansuubiza enkolagana ennungi. Abantu tebamanyi kwanukula mabaluwa ag’engeri ngeeno. So ng’obutaanukula mabaluwa kye kimu ku bisinga obubi mu bukulembeze”.
Asaasidde nnyo ab’oluganda be n’emikwano, saako bannamateeka olw’okuviibwako omuntu bwatyo.
Mu kiseera ekino enteekateeka z’okukungubagira sipiika Jacob Oulanya mu parliament nazo zigenda mu maaso.
WatEereddwawo ekitabo ekyenjawulo, ababaka mwebawandiika obubaka bwabwe obukungubagira omugenzi.
Ekifaananyi ky’omugenzi Jacob Oulanya nakyo kiteetekeddwa ku parliament, mu kibangirizi ekimanyiddwa nga “Lobby”,abantu abenjawulo okukikubako eriiso.