Obwakabaka bwa Buganda bufulumizza enteekateeka entongole ez’omukolo gw’okujaguza n’okukuza olunaku lw’amazaalibwa ga Kabaka ag’e 69.
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yazaalibwa nga 13 April,1955.
Ssentebe w’olukiiko oluteesiteesi era minister wa government ez’ebitundu, Okulambula kwa Ssaabasajja era avunaanyizibwa ku bantu abali ebweru wa Buganda Owek Joseph Kawuki agambye nti emikolo emikulu n’okusaba egy’okukuza amazaalibwa ga Kabaka age 69 gyakukwatirwa ku Kkanisa y’Abadivent e Najjanankumbi mu ssaza Kyaddondo.
Okusaba kwakubaawo ku lunaku lw’ennyini olw’amazaalibwa ku nga 13 April.
Owek Kawuki agambye nti waliwo entegeka ezigenda okusookawo omuli ebyoto eby’enjawulo okwetoloola embuga z’amasaza zonna mu Buganda n’eggombolola nga bikulemberwamu abaami b’amasaza n’abeggombolola.
Enteekateeka eno yakubeera mu Masaza gonna okwetoloola Buganda ey’okusoosowaza n’okumanyisa Obuganda ebikwata ku bulamu bwa Ssaabasajja okuva mu butoobwe, byayiseemu n’engeri gyakulembeddemu Obuganda kati emyaka kumpi 31.
Enteekateeka eno egenda kubeera ku “byoto – essomero ly’Omuganda ery’ennono.” Abavubuka be bakutte omumuli nga balungamizibwa abaami ba Kabaka mu masaza n’amagombolola.
Byonna bino byakubaawo ku Friday nga 12 April,2024.
Ekyoto ekikulu kyakuyindira ku ttendekero ly’Obwakabaka erya Buganda Royal Institute of Business and Technical Education e Kakeeka Mmengo.
Ku byoto kuno kwakubaako entimbe okunaalagibwa Entambi eziraga emirimu gya Ssaabasajja ne byazze ayitamu okuva obuto bwe n’abantu ab’enjawulo okwogera ku bulamu bwa Ssemunywa obw’emyaka 69.
Wategekeddwawo n’olusiisira lw’ebyobulamu ku ddwaliro e Nsangi mu ggombolola Ssaabagabo Nsangi omunabeera okugaba obujjanjabi obwobwereere, okukebera endwadde n’okusomesa abantu ba Kabaka ku nsonga z’ebyobulamu ku friday ya wiiki eno.
Mwakubaamu okukebera akawuka ka mukenenya, okukebera n’okujjanjaba amaaso n’obulwadde obulala.
Mu ngeri ey’enjawulo, wategekeddwawo ne program ez’enjawulo ku Radio CBS emikutu gyombi n’omutimbagano gwayo ne ku BBS Terefaayina, Katikkiro Charles Peter Mayiga kwanasinziiranga okwogera ku bulamu bwa Nnyinimu nga 12 ne 13 April,2024.
Mu program ezo kwakubaamu n’okwogera kw’abantu ab’enkizo okuva mu lulyo Olulangira.
Obuganda mu ngeri yeemu bukubiriziddwa n’okusimba omuti ogw’ekijjukizo olw’amazaalibwa ga Kabaka ag’e 69.
Abanaasimba omuti ku lunaku lw’amazaalibwa ga Ssaabasajja musabibwa okukwata akatambi oba ekifaanayi obiweereze ku 0756249744 bissibwe ku mikutu gya CBS egy’omutimbagano.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo Kiwanuka.