• Latest
  • Trending
  • All
Obwakabaka butongozza ennambika empya ey’okwabya ennyimbe

Obwakabaka butongozza ennambika empya ey’okwabya ennyimbe

April 4, 2023
Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo lw’e Mityana – emmotoka zitomereganidde e Bujuuko

Maama n’abaana be 2 bafiiridde mu kabenje ka bodaboda e Iganga

June 16, 2025
Embalirira ya Buganda eya 2025/2026 – essira liteekeddwa ku bavubuka

Embalirira ya Buganda eya 2025/2026 – essira liteekeddwa ku bavubuka

June 16, 2025
Okulonda obukiiko bw’abakadde ku byalo kwa ggwanga lyonna

Okulonda obukiiko bw’abakadde ku byalo kwa ggwanga lyonna

June 16, 2025
Empaka z’Amasaza 2025 : Amasaza 3 gatongozza ttiimu zaago nga gazannyamu omupiira ogw’omukwano

Empaka z’Amasaza 2025 : Amasaza 3 gatongozza ttiimu zaago nga gazannyamu omupiira ogw’omukwano

June 15, 2025
Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo lw’e Mityana – emmotoka zitomereganidde e Bujuuko

Emmotoka ya Sinotruck eyiingiridde emmotoka eziwerekera omumyuka wa sipiika wa Parliament Thomas Tayebwa – abantu 6 balumiziddwa

June 14, 2025
President Museveni asisinkanyemu omubaka wa German mu Uganda Matthias Schauer – baliko ensonga zebakkaanyizaako

President Museveni asisinkanyemu omubaka wa German mu Uganda Matthias Schauer – baliko ensonga zebakkaanyizaako

June 14, 2025
Nambaziira Joan okuva mu ssaza Buluuli awangudde empaka za bannalulungi ba Buganda ab’ebyobulambuzi eza 2025

Nambaziira Joan okuva mu ssaza Buluuli awangudde empaka za bannalulungi ba Buganda ab’ebyobulambuzi eza 2025

June 14, 2025
Shamirah Nabadda alondeddwa okulamula ogwa Women Africa Cup of Nations 2025

Shamirah Nabadda alondeddwa okulamula ogwa Women Africa Cup of Nations 2025

June 13, 2025
Bannakatemba bajjukidde omugenzi  Kato Lubwama – awezezza emyaka 2 bukyanga afa

Bannakatemba bajjukidde omugenzi Kato Lubwama – awezezza emyaka 2 bukyanga afa

June 13, 2025
President Museveni alagidde ebitongole bya Government okussa essira kukunoonyeza eby’amaguzi bya Uganda obutale

President Museveni alagidde ebitongole bya Government okussa essira kukunoonyeza eby’amaguzi bya Uganda obutale

June 13, 2025
Katikkiro Mayiga atongozza omwaka A ogwa Mmwaanyi Terimba  2025/2026

Katikkiro Mayiga atongozza omwaka A ogwa Mmwaanyi Terimba 2025/2026

June 13, 2025
Abakuumi balwanidde sente shs 13000 e Kabowa – omu asse munne

Amasannyalaze gakubye 5 e Kansanga – omu afiiriddewo

June 13, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Obwakabaka butongozza ennambika empya ey’okwabya ennyimbe

by Namubiru Juliet
April 4, 2023
in BUGANDA
0 0
0
Obwakabaka butongozza ennambika empya ey’okwabya ennyimbe
0
SHARES
1.2k
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Obwakabaka bwa Buganda butongozza ennambika entongole enaagobererwa mu kwabya ennyimbe n’obusika.

Ennambika eno yateekeddwateekeddwa era newandiikibwa ba Jjajja Abataka abakulu ab’obusolya.

Ennambika eno etongozeddwa Katikkiro wa Buganda ku mbuga enkulu Bulange e Mengo.

Katikkiro agambye nti ennambika eno nkulu okuttukiza obuwangwa obubadde buserebye abamu nebatuuka n’okwekwasa obusongasonga nebagaana okwabya ennyimbe.

Katikkiro asoomoozezza abawanuuza nti eddiini zabwe zikontana n’okwabya olumbe, n’abasaba bamulage olunyiriri mu kitabo ekitukuvu olubagaana okwabya olumbe.

“Be ppo nga mu Biyibuli ne Quran mulimu olunyiriri olugaana okwabya olumbe, naye nze sirumanyiimu, kale musaana okuva mu kwekwasa”

Agambye nti okwabya olumbe mukolo muzzanganda, okutabaganya ababa basoowaganye, ekika kisoosowazibwa era n’essanyu libeeramu olwo n’emireerembe negimalwawo n’ebirala, ebitasaana kukolebwa mu kupapirira era nga tebikontana na nzikiriza yonna.

“Wakyaliyo n’abakyayogera ku by’embugo, abo nsekerera basekerere, nti kubanga olubugo baalulaba mu ssabo, nnabuuza ssengange nti onaayita bute, anti n’engoye bazambala nga bagenda mu ssabo….”

Asabye abakulu mu bika abakwatibwako obutereevu bulijjo okwekkaanya obulungi ennambika eno n’okugigoberera, wamu n’abalungamya b’emikolo abaweebwa obuvunaanyizibwa okukulemberamu emikolo gino, okuwabula abategesi b’ennyimbe okutambulira ku nnambika entongole.

Minisita w’obuwangwa, Ennono, Embiri, Amasiro, Ebyokwerinda n’Olulimi Oluganda, Owek. David Kiwalabye Male, agambye nti bataddewo ebbaluwa entongole bbiri Ez’obwakabaka Okuli, Etambuza olumbe ate n’Eyomusika.

Mu ngeri yeemu Owek. Male ategeezezza nti Obwakabaka butandiseewo Etterekero ly’abasika (Data base) ku mutimbagano kwebanaayitanga okubalondoola n’okumalawo endooliito z’obusika.

Owek. Male agambye nti mu nnambika eno bingi ebibadde bikolebwa nga bikontana n’obuwangwa bwa Buganda era bigenda kutereezebwa, ng’okussaako omusika nga baakava emagombe, abasajja okusikisa abaana abawala, okukuba ebidomola ku nnyimbe ng’emibala n’ebirala bingi.

Ssentebe w’olukiiko lw’Abataka abakulu b’Obusolya, Omutaka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba agambye, nti ng’Abataka bakkaanya okuleeta n’ennambika eno oluvannyuma lwokwekkaanya nti bingi mu mukolo gwokwabya olumbe byali bidobonkanye, bangi nga bekwasa omulembe n’eddiini.

“Empisa y’okwabya olumbe n’obusika, yeemu ku bizze bidobonkana elwembeera eyajjawo ng’obwakaba buwereddwa, omukolo neguva mu nkola entuufu, kyetwava tusalawo okuguzza obuggya”

Omutaka Nnamwama agambye nti kino bakikoze okunyweza empisa yaffe ng’abaganda, kyokka nga tubikwataganyizza n’enkola ey’omulembe omuggya.

Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Maama n’abaana be 2 bafiiridde mu kabenje ka bodaboda e Iganga
  • Embalirira ya Buganda eya 2025/2026 – essira liteekeddwa ku bavubuka
  • Okulonda obukiiko bw’abakadde ku byalo kwa ggwanga lyonna
  • Empaka z’Amasaza 2025 : Amasaza 3 gatongozza ttiimu zaago nga gazannyamu omupiira ogw’omukwano
  • Emmotoka ya Sinotruck eyiingiridde emmotoka eziwerekera omumyuka wa sipiika wa Parliament Thomas Tayebwa – abantu 6 balumiziddwa

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist