
Obwakabaka bwa Buganda buggaddewo wiiki y’obutondebwensi ku mukolo ogubadde mu Lubiri e Mengo.
Wiiki eno etambulidde ku mulamwa ogugamba nti Obutondebwensi bwamugaso eri ebitonde byonna.
Mu wiiki eno mubaddemu okusimba emiti mu masaza ga Buganda gonna, ku bitebe by’amagombolola ne mu maka g’abantu.
Okunonyereza okuva mu ministry y’amazzi n’obutondebwensi kulaga nti obutonde bungi bukoseddwa olw’okukendeera kw’ebibira.
Mu 1900 ebibira byali bikola ebitundu 53%, mu 1990 byali ku bitundu 24% ate nga we gwatuukidde omwaka oguwedde 2021 nga ebibira bikola ebitundu 13.3%.

Kunsonga y’entobazi alipoota eraze nti n’okusanyizibwawo kw’entobazi kweyongedde nnyo, nga mu 1994 obugazi bw’entobazi bwali 37,559.4 km nga bye bitundu 15.6%, kyokka werwatukira mu 2019 nga obugazi bw’entobazi bukola 31,412km bye bitundu 13%.
Alipoota eraze nti okwonooneka kw’entobazi kusinze mu buvanjuba bwa Uganda ’ebitundu 40%, Buganda n’eddako n’ebitundu 26%, obukiika kkono kya kusatu n’ebitundu 18% ate obugwanjuba ebitundu 17%.

Wano mu Buganda entobazi ezisinze okwononebwa kuliko Lwajjali-Ssezibwa, Wamala, Kinawattaka, Kansanga, Nakivubu,Lubigi ne Lumansi.
Okwononebwa kw’entobazi zino okusinga kusinze kukosebwa byabulimi ebikola ebitundu 94.2%, amakolero n’abantu okuzisengu bakola ebitundu 4.9% n’ensonga endala.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga bwabadde aggalawo wiiki y’obutondebwensi mu Lubiri e Mengo, asabye abantu ba Buganda okwetikka obuvunanyizibwa obwawamu, ate n’okubeera abavumu mu kutaasa obutondebwensi.

Ku lwa government eyawaka, Steven Mugabi akiikiridde omuteesiteesi omukulu mu ministry y’amazzi n’obutondebwensi, agambye nti buli kyetagisa bagenda kukikola nga bakolagana n’obwakabaka,okutaasa obutondebwensi.
Eyaliko omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga, Edward Kiwanuka Ssekandi yabadde omugenyi ow’enjawulo ku mukolo guno.

Minister w’obutondebwensi, ettaka, bulungibwansi n’obwegassi, Owek Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo, asabye government okuwa Buganda buli kyetagisa mu kuzaawo obutondebwensi, ate n’okuwa Buganda obuyinza okukwekuumira ebintu byayo omuli ebibira n’entobazi.
Banamukago abakulu abakolagana n’obwakabaka mu kukuuma n’okuzaawo obutondebwensi aba Wild Wide Fund abakulembeddwamu, Ambassador Phillip Idro ne Rita Mugwanya, bakakasizza nti bagenda kutuukira ddala mu masaza gonna 18, okubunyisa enyingiri y’okukuuma n’okutaasa obutonde.
Katikkiro wa Buganda eyawummula Owek Dan Muliika, n’abantu abalala bangi betabye ku mukolo guno.