Kyagulanyi abadde ku kitebe kya NUP ekipya e Makerere Kavule mu lukungaana lwékibiina olwa buli mwaka olwókulambika bannakibiina olumanyiddwa nga Kunga Uganda.
Robert Kyagulanyi Ssentamu alungamizza nti abayina endowooza eyokuteesa ne President Museveni nti yabwe ngábantu , era n’agamba nti bwewabaabawo omuntu eyateesa ne President Museveni okuyimbula ababaka Ssegirnya Muhammad owa Kawempe North ne Allan Ssewanyana owa Makindye west nábasibe abalala nti yabikola yekka ngómuntu sso ssi ku lwékibiina.
Agambye nti tebalina kyebayinza kuteesa kubanga tebalina musango gwebazza, okuggyako okuwakanya government eri mu buyinza eya NRM.
Robert Kyagulanyi Ssentamu era akangudde ku ddoboozi olw’abantu abeefuula nti bawagizi bakibiina kya NUP nebadda ku bakulembeze mu kibiina nebabakolokota ku bintu byebatalinaako mitwe na magulu.
“omuntu afuna mu ntalo ezitandikibwawo bannakibiina ye government” – Kyagulanyi
Agambye nti entalo eziwulirwa mu NUP waliwo aziseesaamu era yaleetedde bannakibiina abamu okukyusa obwanga nebabuggya kukuvumirira ebikyamu ebikolebwa ku bantu babwe, ate omudumu nebagutunuuliza abakulu mu kibiina kyagambye nti kikyamu nnyo era kizza kibiina mabega.
Akulira oludda oluvuganya government mu parliament era omubaka wa Nyendo Mukungwe Mathias Mpuuga Nsamba alabudde abavubuka okukomya okweyisa ng’obunyonyi bunandibanga nga butuula butuuzi nebusalawo okutabangula amazzi.
Abasabye okukulembeza empisa nga bagala enkyukakyuka mu ggwanga.
Omubaka wa Manjiya County mu district ye Bududa John Baptist Nambeshe alabudde bannakibiina okwewala obutalotalo wabula bakolere wamu okusobola okwenunula.